{UAH} BUganda 2016 Okwegayilila MUKAMA Olunaku 7 ne 8
BUganda 2016 Okwegayilila MUKAMA Olunaku 7 ne 8
Januali 27 ne 28
Yelemiya 23
16 Bw'ati bw'ayogera MUKAMA w'Eggye nti;
"Temuwulilizanga ebigambo bya banabbi ababalagula;
babajjuza n'esuuubi elyobulimba.
Boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo,
so ssi okuvudde mu kamwa ka MUKAMA.
17 Bagamba olutata abo abanyooma,
nti Mukama ayogedde nti: 'Muliba n'emirembe.'
Na buli muntu atambulila mu bukakanyavu bw'omutima gwe ye
bamugamba nti, 'Tewaliba bubi obulibajjila.'
18 Kubanga ani eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo
ategeere oba awulire ekigambo kye?
ani eyali yeetegelezza ekigambo kyange n'akiwulila?
19 Laba, kibuyaga wa Mukama, obusungu bwe busumuluddwa,
omuyaga ogwamaanyi gukka nga gwetoloola
ku mitwe mitwe gy'ababi.
20 Okunyiiga kwa MUKAMA tekulikyuuka
okutuusa lw'alimala okutuukiliza
entegeka z' omutima gwe bye gwamalilila.
Mu nnaku ezijja mulikitegeelela ddala.
21 Situmanga banabbi bano,
naye ne badduka mbilo ne kigambo kyaabwe;
siyogelanga nabo,
wabula baalagula.
22 Naye singa bayimilila mu kuteesa kwange,
kale bandibuulidde abantu bange ebigambo byange
ela bandibakyuusiza okuleka amakubo gaabwe amabi
n'obubi obw'ebikolwa byabwe.
(Okukyuusa Jessica Nakawombe)
Rev. Jessica
"Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)
0 comments:
Post a Comment