{UAH} BUganda 2016 Olunaku 5 Okusaba Okwegayilila
BUganda 2016 Olunaku 5 Okwegayilila MUKAMA
Yelemiya Esuula 23
1 Zibasanze abo abasumba abazikiliza ela abasasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange!" bw'ayogera MUKAMA.
2 MUKAMA Katonda wa Isilayili kyava ayogera bw'ati eri abasumba abaliisa abantu bange nti: "Kubanga musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, nja kubateekako ekibonelezo ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera MUKAMA.
3 "Ela nze Mwenyini ndikuŋŋaanya abafiseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu kisibo kyabwe; era baliyala awamu nokweyongelako.
4 Ela ndibateelawo abasumba mubo abalibalunda: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋentelelwa, so tewaliba noomu abula," bw'ayogela MUKAMA.
5 "Laba, ennaku zijja," bw'ayogela MUKAMA,
"lwe ndiyimusa eli Dawudi Ettabi etuukirivu,
era Kabaka alifuga n'amagezi,
era alituukiliza ebyensonga n'ebituufu mu nsi.
6 Mu mirembe gye Yuda alilokolebwa
ne Isilayili alibeelawo mu milembe.
Lino lye linnya ye ly'alituumibwa;
nti MUKAMA bwe butuukilivu bwaffe.
7 "Laba, nnaku zijja, bw'ayogera MUKAMA, "abantu nga tebakyayogela nate nti, 'Mazima ddala nga MUKAMA bw'ali omulamu, eyaggya abaana ba Isilayili mu nsi ye Misili,
8 naye baligamba nti, Nga MUKAMA bw'ali omulamu eyaggya ezadde ery'ennyumba ya Isilayili okuva mu nsi y'obukiika kkono ela ne munsi (amawanga) gonna gye yabawangangusa.' Kale no balibeela mu nsi yaabwe.
Abasumba ennaku zino beeyisa nga bwe balaba! Ela abantu bangi bakooye abaSumba! Bakooye obulokole! Bakooye amakanisa! Abasumba basasaanyizza endiga! Bazigobye! Tebazifaako! Bazaagalamu nsimbi! BazikilIza endiga! Bwatyo bwayogela MUKAMA.
Jessica Nakawombe
"Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)
0 comments:
Post a Comment