UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Okusaba BUganda 2016 Okwegayilila Olunaku 4


Olunaku Olwokuna Januali 24

Danyeli Essuula 9

1 Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Daliyo omwana wa Akaswero, (ow'ezadde ery'Abameedi), eyalya obwakabaka obw'Abakaludaaya:

2 mu mwaka ogw'olubereberye mu mirembe gye, nze, Danyeli nategeela okuva mu Byawandiikibwa, ng'ekigambo MUKAMA kye yawa Yeremiya nabbi, nti okuboonabona (okuzika) kwa Yelusalemi kulimala emyaka nsanvu.

3 Ne nteeka amaaso gange eli MUKAMA Katonda nga muwanjagila mu kusaba n'okwegayilila, nga nsiiba enjala era nga nnyambala ebibukutu nenesiiga evvu.

4 Ne nsaba MUKAMA Katonda wange, ne njatula nti;

"Ayi MUKAMA, Katonda omukulu era ow'entiisa, atuukiliza endagaano ye eyokwagala eli abo bonna abamwagala ne bakwata (bagobelela) amateeka ge,

5 twonoonye ela tukoze eby'obubambaavu, n'obubi. Tubadde babi ela tujeemye; nga tukyama okuleka ebilagilo byo n'amateeka go.

6 So tetwawulila baweeleza bo banabbi (n'abalanzi), abayogelelanga (abalaangililanga) mu linnya lyo eli bakabaka baffe (abafuzi – ba pulezidenti, abakulu mu gavumenti, abakulu mu magye, ne mu poliisi) abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bonna ab'omu nsi yaffe.

7 "Ayi MUKAMA, oli mutuukilivu, naye kati (kaakano) twambaziddwa (tubikiddwa) obuswaavu (ensonyi) - abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yelusalemi, ne Isilayili yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, ne mu nsi zonna (amawanga) gye watusaasanya, kubanga twakujeemela ne twonoona.

8 Ayi MUKAMA, ffe ne ba kabaka baffe, (abafuzi, ba pulezidenti, abakulu mu gavumenti, poliisi n'amagye), bassekabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, twambaziddwa obuswaavu (ensonyi), kubanga twakujeemela ne twonoona.

9 Mukama Katonda waffe asaasila ela asonyiwa, newankubadde twamujeemela;

10 so tetuwuliliza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, wadde okutambulila mu mateeka ge ge yatuwa ngayita mu baweeleza be banabbi.

11 Nolwekyo, Isiliyali yenna (BUganda yonna) asobezza eteeka lyo, ne bagaana okukugondela Ggwe.

"Nolwekyo ebikolimo nebibonelezo bye welayilila nga bwe kyawandiikibwa mu Teeka lya Musa, omuweeleza wa Katonda, bituyilidwaako, kubanga tukwonoonye Ggwe.

12 Naye otuukilizza ebigambo byo, bye wayogela ku ffe, ne ku bafuzi baffe ela ne ku batulamula, notuleetela akabi akanene ennyo. Kubanga wansi w'eggulu lyonna tekikolebwanga nga bwe kyakolebwa ku Yelusalemi (BUganda).
13 Nga bwe kyawandiikibwa mu Teeka lya Musa, akabi kanno konna kaatujjila, naye tetunanoonya kisa kya MUKAMA Katonda waffe, tuleke ebikolwa byaffe ebibi nga tusaayo omwoyo ku mazima go.

14 MUKAMA teyagaana kutuuletako kabi kano akanene, kubanga MUKAMA Katonda waffe mutuukilivu mu bikolwa bye byonna; naye ela tetumugondedde.

15 "Ne kaakano, Ayi MUKAMA Katonda waffe, eyaggya abantu bo okuva mu nsi ye Misili n'omukono ogw'amaanyi, ela neweekolela elinnya elimanyiddwa ne leelo, twonoonye, tukoze obubi.

16 Ayi MUKAMA, nga bwokuuma ebikolwa byo byonna ebyobutuukilivu, kyuusa obusungu bwo n'obukambwe bive ku Yerusalemi, (BUganda) kibuga kyo, ku lusozi lwo olutukuvu. Kubanga ebibi byaffe n'obutali butuukilivu bwa bajjajjaffe bufuusizza Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eli abo bonna abatwetoloodde.

17 "Kaakano, Ayi Katonda waffe, wulila okusaba kw'omuweeleza wo, n'okwegayilila kwe. Ela ku lulwo Ssebo, Ayi MUKAMA, otutunuulile n'ekisa kyo awatukuvu wo awazise.

18 Tega okutu, Ayi Katonda, owulile; ozibule amaaso go, otunuulile okuzikilila kw'ekibuga ekiyitibwa Elinnya lyo. Kubanga tetuleeta kwegayilila kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, wabula olw'okusaasila kwo okungi.

19 Ai MUKAMA, wulira!

Ayi MUKAMA, sonyiwa!

Ayi MUKAMA, wulira ela okole (oddemu)!

Ku lulwo, Ayi Katonda wange, tolwaawo, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo bayitibwa Linnya lyo."


Okukyuusa Jessica Nakawombe



 Jessica Nakawombe


"Have I not commanded you? Be strong and courageous.

Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers