UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Okwegayilila olwa BUganda 2016


Buli alumililwa BUganda (Buganda ne Uganda) olina okwegatta mu kusaba kuno okwegayilila Mukama atusonyiwe ataase ensi yaffe, ffe, abaana baffe n'abazzukkulu, n'abaliddawo. Zijja kuba ennaku 21 okuva leelo Januali 21 okutuuka Lwakusatu Febuali 3, 2016. Ekibi n'eddogo lingi bisibye ensi yaffe. Abantu tusobezza MUKAMA mu ngeli nyingi nnyo nga mu bilo bya ba Ssekabaka ba Yisilayili. Tuvudde nnyo ku Mukama ne tukola ebyaffe ffe bye twaagala oba ebitusanyusa. Tukoppye empisa ezitatugasa kubanga mbu za mulembe!

Olunaku Olusooka Lwakuna Januali 21, 2016

Ekyabalevi Esuula 18
1 MUKAMA n'agamba Musa nti,
2 Yogera n'abaana ba Isilayili, obagambe nti Nze MUKAMA Katonda wammwe.
3 Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.

4 Muteekwa okugondela amateeka gange, nokugobelela ebilagilo byange. Nze MUKAMA Katonda wammwe.


5 Mukuume ebilagilo byange n'amateeka okubitambulirangamu, kubanga omuntu abigondela abitambulizaamu obulamu bwe. Nze MUKAMA.

6 " 'Omuntu yenna tasembelelanga gw'alinako obuko yenna okwegatta naye. Nze MUKAMA.


7 " 'Toswaazanga kitaawo okwegatta ne nnyoko (maama wo). Oyo nnyoko; tewegattanga naye.


8 " 'Tewegattanga ne mukyala wa kitaawo; ekyo kiswaaza kitaawo.


9 " 'Tewegattanga ne mwanyoko, muwala wa kitaawo gwazaala oba muwala wa nyoko gwazaala, oba azaalibwa mu nju eyo oba walala.

10 " 'Tewegattanga ne mutabani wa muwala wo oba muwala wa muwala wo; ekyo kikuswaaza.

11 " 'Tewegattanga n'omuwala wa muka kitaawo, kitaawo gwazaala; oyo mwanyoko.


12 " 'Tewegattanga ne mwanyina wa kitaawo; wa lubu lwa kitaawo.


13 " 'Tewegattanga ne muganda wa nnyoko, kubanga wa lubu lwa nnyoko.


14 " 'Toswaazanga muganda wa kitaawo okukwana mukyala we okwegatta naye; oyo maama wo.


15 " 'Tewegattanga ne muka mwana wo. Oyo mukyala wa mutabani wo; tewetabanga naye.


16 " 'Tewegattanga ne mukyala wa muganda wo; ekyo kiswaaza muganda wo.


17 " 'Tewegattanga n'omukazi ne muwala we bombi. Tewegattanga ne muwala wa mutabani we oba muwala wa muwala we; ba lubu lumu. Ekyo kya kivve, kibi nnyo.


18 "Toddilanga muganda wa mukyala wo okuba mugya we ne wegatta naye nga mukyala wo akyaali mulamu.


19 " 'Tokwananga omukazi okwegatta naye ng'ali mu nsonga z'abakyaala.


20 " 'Tewegattanga ne mukyala wa mulilaanwa wo ggwe okweyonoona (defile yourself) naye.


21 " 'Towangayo omwana wo yenna okusadaakibwa eli Moleki, muleme okutyoboola elinnya lya Katonda wammwe. Nze MUKAMA.

(Moleki be bakatonda oba balubaale bomulilo aba bamawanga be basaadakilanga abaana abato mu kutulugunyizibwa okwamaanyi n'okubookya nga balamu).


22 " 'Tewegattanga n'omusajja nga bwe wegatta n'omukazi; kya muzizo.


23 " 'Tewegattanga nekisolo kyonna ne weyonoona ggwe nakyo. Omukazi teyegabulanga ku nsolo okwegatta nayo; ekyo ky kivve.


24 " 'Temweyonoonanga mu ngeli yonna nga zino, kubanga amawanga ge ngenda okugoba mu maaso gammwe nga temuyonoona. 25 " Ne ttaka lyayonoonebwa; kyenava ndiboneleza olwekibi kyaalyo, ela ettaka lyasesema abalilimu. 26 Naye muteekwa okukuuma ebilagilo byange namateeka gange. Abazaale ba Nnansangwaawo nabagwiila ababeela nammwe tebakolanga ekintu kyonna ekyomuzizo, ekyenyamiza, kubanga ebintu. Bino byonna abantu abaali munsi eno gyemulaga baabikolanga, ela ettaka (ensi) ne lyonoonebwa. 28 Ela bwe munayonoona ettaka (obutaka), lijja kubasesema wabbali nga bwe lyasesema ababasooka.




Jessica Nakawombe


"Have I not commanded you? Be strong and courageous.

Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers