UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} BUganda 2016 OKWEGAYILILA MUKAMA OLUNAKU 15- 21 – FEBUALI 21

BUganda 2016 OKWEGAYILILA MUKAMA

OLUNAKU 15- 21 – FEBUALI  8-21

Yelemiya

Esuula 6

16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo: naye ne boogera nti Tetuutambulire omwo.

17 Ne mbateekako abakuumi ne boogera nti Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere; naye ne boogera nti Tetuuwulirize.

18 Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiri mu bo.

19 Wulira, ggwe ensi: laba, nditeeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulidde bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.

20 Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, n'emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tebinsanyusa.

21 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano: ne bakitaabwe ne batabani baabwe wamu balizeesittalako; muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.



Esuula 7

1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti

2 Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.

3 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino.

4 Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama.

5 Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne;

6 bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini:

7 kale ndibatuuza mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna.

8 Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa.

9 Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga,

10 ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno erituumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti Tuwonyezebbwa; mulyoke mukole emizizo egyo gyonna?

11 Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.

12 Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri.

13 Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama; ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba:

14 kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange; gye mwesiga, n'ekifo kye nnawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro.

15 Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.

16 Kale tosabiranga bantu bano so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire.

17 Tolabye bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?

18 Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansunguwaze.

19 Basunguwaza nze? bw'ayogera Mukama tebeesunguwaza bo bennyini, okuswaza amaaso gaabwe bo?

20 Mu kama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange birifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so te bulizikizibwa.

21 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.

22 Kubanga saayogera ne baajjammwe so saabalagira ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri eby'ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka:

23 naye ekigambo kino kye nnabaagira nti Muwulirenga eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga nu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.

24 Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso.

25 Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma:

26 era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaabwe.

27 Era obagambanga ebigambo bino byonna; naye tebaakuwulirenga; era obakoowoolanga, naye tebaakuyitabenga.

28 Era obagambanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.

29 Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez'obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe egy'obusungu bwe, abaleseeyo.



Jessica Nakawombe


"Have I not commanded you? Be strong and courageous.

Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers