UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} OWEKITIIBWA JOSEPH G MULWANYAMULI SSEMWOGERERE.

OWEKITIIBWA JOSEPH G MULWANYAMULI SSEMWOGERERE.

Yazalibwa mu ddwaliro lye mitala maria mu mawokota.
Wabula a bazadde be Nzizzi kasaana mu Buddu.
Yasoma nakuguka mu bya mateeka ko ne byenfuna okutukira ddala mu Dar es salaam university.
Yasomako ne Yoweri Kaguta Museveni e Tanzania era eyo gyebafukira ab'omukwano eyo mu myaka gyensanvu.

Yetaaba mu lutalo lwekiyekera olwaleta NRM mu buyinza era ajjukirwa nyo mukutabankanira emirembe nga amaliriza emisomo gye.

Nga olutalo luwedde olwekiyekera yakola emirimu egitali gimu wano ne bweru we ggwanga.

Yakolako mu Africa Development Bank.
Yaliko mu Sembule commercial Bank
Yawerezako mu Commercial Bank ya Africa
Yaliko Chief Executive wa National Housing.
Yaliko omubaka wa Uganda mu kitongole kya mawanga amagatte UN.
Yaliko Chief Executive wa Uganda commercial Bank.
1988 yaliko omubaka wa pulezidenti e masaka ebiseera ebyo yali ayitibwa District Administrator.
Yaliko ssentebbe wo lukiiko olufuzi olwa Nile Complex International Conference Centres Kati eyitibwa Serena hotels.
Yemutandiisi wa Hotel Lanova mu Masaka.
Ye ssentebbe wa Masaka Investments Ltd.
Yo mu ku bamemba mu Uganda National Chambers of Commerce and Industry.

1993 nga obwakabaka bweyalwanirira bumaze okudda, Kabaka yasiima namuwa obwa Katikkiro amulamulire ko obwa kabaka.
Ebiseera ebyo eyalina Ddamula Mayanja Nkangi eyali Katikkiro nga Obote awamba obwakabaka.

Yatandiika obukulembeze bwo bwa Katikkiro nga tewali wadde entebe Mu offisi era obukulembeze bwe bwali bujjudde ensozzi kuba Obuganda bwali butaguddwa nga ebizimbe birimu magye.

1994 yatuzibwa mu butongole ku bwa katikkiro obujuvu oluvanyuma lwa owekitiibwa Mayanja Nkangi okuwayo Ddamula era obuganda bwafuna ebbugumu.

Ajjukirwa nyo mukubanja ebyaffe omuli federo,okusasulwa ebyo ebyayononerwa mu lutalo,okutudiza olubiri, Bulange ne bifo ebirala nga ebitebbe bya masaza na magombolola.

Ku mulembe ggwe Obuganda bwatandiika wo CBS lediiyo ngali wamu na bakazzi na basajja abaziira.
Yatandiika wo Buganda Land Board okukunqanya nokukuuma ettaka lyo bwa kabaka.
Yakola nyo obutebalirwa ne banne okutegeka embaga ya Kabaka mu 1999.

Ebitongole byo bwakabaka nga kabaka education fund, kabaka foundation ne birala ebiyambye abaana ba Buganda okusoma byatandikibwa wo owekitiibwa Mulwanyamuli.

Owek Mulwanyamuli ajjukirwa okukuma kuuma abantu ba Buganda mukiseera obwakabaka nga bukyali mu kusomozebwa kuba tekwali kwagala kwa balwanyi kuzawo bwa kabaka.

Ye katikkiro ku mulembe omutebi akyasinze okumalako ebbanga Eddene.

Yatuusa obuganda ku nkulakulana no bumu nokumanyisa abavubuka obwakabaka bwa bwe era ojjakujjukirwa na baliddawo.

Yetaba munteseganya ne gavumenti ya Museveni okufuna ebyaffe wadde nga ebyavamu tebyawomera batunulizi naye ajjukirwa nyo olwomukwano gweyalina eri obwakabaka obwamulesawo nomulimu Museveni gweyali amuwadde addeyo mu UN nga mugamba nti obwakabaka temuli ssente.

2005 yasaba Ssabasajja okuwumula era kabaka namukiriza bwatyo okufananako ne kitaawe Yasenti Mulwanyamuli eyawereza obwakabaka okumala emyaka 35 ne Ssemwogerere yakolera obwakabaka bwe nga katikkiro okumala emyaka 12.

2010 yalaba mwami Museveni avudde ku mulamwa yasalawo okwegatta ku Dr. Besigye mu kulonda kwa 2011 wadde nga tebyagenda nga weyasubira.

Ajjukirwa nyo okuba omuyima wekisinde kye byobufuzi ki SSUUBI ekyalimu banna byabufuzi nga Hon.Nambooze, Hon Kasibante, Muwanga Kivumbi, Lord mayor Elias Lukwago, Hon.Medard Ssegona,Hon. Mathias Mpuuga nabalala era bonna bafuuka babaka ba palaamenti kale agogona manyi ga Owekitiibwa Mulwanyamuli.

Kati yawumula ebyobufuzi alima alunda mu faamu ze e mawokota,Buddu ne ssese kubizinga.
Akubiriza abantu okwetegekera okuwumula kuba amanyi gaba ga bawedde

Owekitiibwa Mulwanyamuli Ssemwogerere ensi ejakujukira nyo olwebyo byokoledde Buganda ne Uganda era tusaba katonda akwongere obulamu olabe ku mukwano gwo Museveni nga awayo Obukulembeze mu mirembe.

Ayi katonda kuuma Kabaka Wange.

Nze Kiggundu Ibrahim Basengejja munna byafaayo.



--
"When a man is stung by a bee, he doesn't set off to destroy all beehives"

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com
---
You received this message because you are subscribed to the Google Groups "Ugandans at Heart (UAH) Community" group.
To unsubscribe from this group and stop receiving emails from it, send an email to ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com.
To view this discussion on the web visit https://groups.google.com/d/msgid/ugandans-at-heart/CAFxDTfpY4o4iTk1bqBDkBCZZLbhwPObsJ_yTq42pktzC%3DSpPyQ%40mail.gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers