{UAH} MWAALI BATO NGA
MWAALI BATO NGA,
1 - Soda yalinga ku nusu 500/= walingawo ne ofwono nga wa 800 ne cool cool bar,bwewabanga tolina sente. nimbye?
2- Okuva mu Ndeeba okutuuka mu Paaka enkadde, twasasulanga nusu 200/=, Ate nga bwewalinga toweza sente za taxi wayogeranga luzungu conductor nga akuvako.

3- Ebiseera ebyo wagulanga airtime nga olina no'kugula service fee akuyamba okukuba essimu
4- Line ya celtel yagulanga emitwaalo etaano(50,000/=)ate nga olina okujja ne'bbaluwa ya Lc
5- Kilo ya sukaali yagulanga nusu 1500/=
6- Emizanyo gya'baana abawala
gyaalinga; kwepena,tteppo ne bulaada

7-Emizanyo gya'baana abalenzi gyalinga;duulu,kakebe,ggi luyi no'kuvuga ebipiira
8-Empuuta yalibwanga maka maavu ate
twajiryanga tweggalidde,


9-Ebiseera ebyo nga ku Valentine omwagalwaawo omutwaala mu kibanda kya firimu
10-Aspro
lyelyaali eddagala lyebiseera ebyo

11-Chapambalasi yeyalinga pain killer ebiseera ebyo
12-Ebiseera ebyo nga buli petrol station tugiyita shell
.

13-Ebiseera ebyo nga buli ssimu nga eyitibwa celtel



14-Ebiseera ebyo nga bwoba no'muwala gwoyagala owandiika
bbaluwa


15-Tewalinga biyindi oba ebifilipini twalabanga bibawo, that's life mwattu, zinunula omunaku, kigenyagenya, power rangers.Mpozi abeswaga bebalabanga jam agenda ne kazora oba late show ne straka baibe mpozi ne sun set beach abayagalanga akazanyo k'oluzungu ate nga bwona obuzanyo bwalabwanga olunaku lumu mu week.
16-Woman of my life kekazannyo akaakomekkereza ebiseera ebyo
My age mates mujje mugambe abana abato ebyaliwo,gwe ki kyojukira ebiseera ebyo?``
--
Rehema
Patriot in Kampala,East Africa:Assalamu Alaikum
Patriot in Kampala,East Africa:Assalamu Alaikum
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com
---
You received this message because you are subscribed to the Google Groups "Ugandans at Heart (UAH) Community" group.
To unsubscribe from this group and stop receiving emails from it, send an email to ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com.
To view this discussion on the web visit https://groups.google.com/d/msgid/ugandans-at-heart/CAAvJuBXT6eD2CoPEE9hkvOJy%2BsswBHY-8S6GpwO7pLpJjNW6pA%40mail.gmail.com.
0 comments:
Post a Comment