UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Baganda: I found this interesting!

GANO GE GAMU KU MANNYA AGATUUMIBWA MU BUGANDA NAYE NGA GASIBUKA MU NGERO:

1. Bakusaggira (bakusaggira okolola, nti ak'obugoba k'oyagala?)
2. Basajjamivule/ Mivule (giwaatula ne giggumiza)
3. Basajjassubi (lisiba linnaalyo)
4. Bazibumbira (kwatika ne zigumira mu kyokero)
5. Birungi (tebikke mirembe/bifiira munda )
6. Boogere (balikoowa)
7. Gayita (ku kibi ne gaseka)
8. Kaggwe (ensonyi, ng'omukazi awoza ne bba)
9. Kikonyogo (baakikasukira kulaalira kidda na birimba)
10. Kiriggwajjo (tekikuggyaako munno)
11. Kirimuttu (kimanyibwa nnyinikyo)
12. Kyagaba (tasaaga, mwana w'e Kasagga)
13. Kyaterekera (omunaku tekitera kuvunda)
14. Kyamumi (okiriira ku mwana)
15. Kyazze (tekizzikaayo)
16. Kyewalyanga (bw'olaba ennaku olekayo)
17. Lukka (ennyannja, teruleka nkanga)
18. Mayanja (assa bigere, ng'omutwe guli Sseguku)
19. Mpungu (kkubira bali)
20. Namugenyi (mubi,asuza omulungi enjala)
21. Nnyanja (eradde tebulako jjengo)
22. Nnyonyintono (yeekemba byoya )
23. Ntambaazi (ya kinyomo, erinnya omuti nga yeetisse)
24. Nvannungi (tezirwa kugaga)
25. Ssajjabbi (tiribulwa kye lisiimwako)
26. Ssebaana (bangi sikubula alya ŋŋoma)
27. Ssebabi (tibazza mwoyo)
28. Ssebadduka (ssebaddukanya musibe nga naye aweevuuma)
29. Ssebaggala (miryango, ne beerabira emyagaanya)
30. Ssebalamu (tebeesigwa)
31. Ssebugenyi (bwa nsanafu, gwe zizinda teyeebaka)
32. Ssebuguzi (bwa nnume, tebubulako nteera)
33. Ssebunnya (bwa musota tebusongwamu lunwe)
34. Ssebuufu (bwango tebusaalimbibwamu mbwa)
35. Ssebwato (bumanyibwa mugolomozi)
36. Ssekirembwe/ Kitaakule (kizimba mu lumuli)
37. Ssekiti (kya muwogo gyokisuula gye kimerera)
38. Ssemanda (gamenya embazzi ne gayunga)
39. Ssemwezi (gwaka nga musana, kaakiro tabulamu)
40. Ssennyama (mbi, ekira amaluma)
41. Ssentamu (nkadde togiteresa munno)
42. Wavamunno (tewadda munno)
43. Zikusooka (nezitakuva nnyuma)
44. Zinunula (omunaku katonda azitunga kiro)

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com
---
You received this message because you are subscribed to the Google Groups "Ugandans at Heart (UAH) Community" group.
To unsubscribe from this group and stop receiving emails from it, send an email to ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com.
To view this discussion on the web visit https://groups.google.com/d/msgid/ugandans-at-heart/CAJgJtm0-ENwmRspn1%2Br-%3DvZPUm6DfJUFOECRiTFssaq0avFJyg%40mail.gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers