[UAH] Kabaka alonze Kabineti empya
Kabaka alonze Kabineti empya
Kampala | May 17, 2013
Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda 11 ng''''''''aggulawo olutuula lw''''''''Olukiiko emabegako/ file Photo
·
Bya Catherine Lutwama
Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda 11, asiimye nalonda abakungu b'olukiiko (kabineti) abaggya. Mu balangiriddwa mulimu;
1. Ofiisi ya Katikkiro;
a.Katikkiro; Owek. Chales Peter Mayiga (Nga 23/05/2013 ono lwakwasibwa ddamula era atuuzibwe mu butongole)
b.Omumyuka wa katikkiro asooka (avunaanyizibwa ku nsonga za Buganda ez'ebweru);Owek; Emmanuel L. Ssendawula
c.Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro (avunanyizibwa ku byobuwangwa ne nnono, obulambuzi n'emirimu egy'enjawulo (special projects) okuzzaawo amasiro) Owek; Muhamood Ssemambo Ssekimpi
2. Olukiiko lwa Buganda;
a. Omukubiriza w'olukiiko; Owek. Nelson Kawalya
b. Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko; Owek.Ahmed Lwasa
3.Baminisita;
- Ssaabawolereza ne gavumenti ez'ebitundu; Owek.David F.K. Mpanga
- Omuwanika; Owek; Eva Nagawa Mukasa
- Olukiiko, kabineti, okukwanaganya emirimu(administration)amawulire,Omwogezi w'Obwakabaka; Owek.Denis Walusimbi Ssengendo
- Ensonga z'a ssemateeka za ssemateeka(Justice and constitutional affairs)Oweek. Apollo Nelson Makubuya
- Ettaka Obulimi n'obutonde bw'ensi (analondebwa oluvannyuma)
- Enteekateeka n'enkulakulana(Planning and economic development)Owek.Robert Waggwa Nsibirwa
- Nkuluze/omuwi w'amagezi omukulu mu Lubiri; Oweek;William S.K Matovu
- Obusuubuzi, obutale n'obweggassi; Owek. Muhamood Thobani
- Abakyala ne Bulungibwansi (analondebwa oluvannyuma)
- Ebyenjigiriza;Owek Twaha Kawaase
- Ebyobulamu; Owek; Ben Kiwanuka Mukwaya
- Abavubuka, emizannyo n,ebyokwewummuza; Owek Henry Ssekabembe
4. Ba Minisita ababeezi
a. Ofiisi ya Katikkiro; Owek; Noah Kiyimba
b. Bulungibwansi; Owek Mariam Nkalubo Mayanja (ajja kuvunaanyizibwa ne kukulambula kwa Kabaka)
c. Gavumenti ez'ebitundu; Owek.Joseph Kawuki
d. Ebyobulambuzi; (anaalondebwa oluvannyuma)
e. Ow'obungwa (analondebwa oluvannyuma)
f. Ensinga ez'ebweru; (analondebwa oluvannyuma)
5. Abaweereza abalala.
a.Akulira Buganda Land Board; David Kyewalabye Male
b.Kalondoozi w'emirimu(audit section) n'enkuluze; John Kitenda
c.Omuwandiisi ow'enkalakkalira (Under secretary), (analondebwa oluvannyuma)
d.Owabagenyi (protocol) Omuwandiisi w'olukiiko; David Ntege.
e.Omukwanaganya ( coodinator) Bulange Plaza; Joseph Kizito Nsubuga
6. Abawi b'amagezi
a. Amakolero n'ebyobusuubuzi; woofisi ya Katikkiro Owek. Kaddu Kiberu
b. Olulimi oluganda mu wofisi y'omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro Dr.Fred Masagazi Masaazi.
0 comments:
Post a Comment