[UAH] Abaganda mukomye obutiitiizi – Mayig
Abaganda mukomye obutiitiizi – Mayiga |
WAKISO Katikkiro Charles Peter Mayiga ayogedde ku Polof. Gilbert Bukenya nga munnabyabufuzi ow'enkizo alumirwa enkulaakulana y'eggwanga, n'asaba Obuganda bumuwagire atwale ekirooto kino mu maaso. "Ensi w'etuuse yettanira abakulembeze abagwa mu kiti kya Bukenya abayiiya era abalengera ewala, n'olwekyo nsuubira nti ali ku mulamwa," Katikkiro Mayiga bwe yagambye ng'aggulawo obukolero obutono obwatandikiddwawo Polof. Bukenya okuyamba abavubuka n'abakyala mu bitundu by'e Kakiri ku lwokusatu. Yasabye Abaganda bakomye obutiitiizi, bwe yagambye nti bubalemesezza okukola ebinaabayamba n'okwogera ku bibaluma olwokuba balina ebifo mu gavumenti, n'akkaatiriza nti bwe beegatta tewali asobola kubawangula. Bukenya yamwogeddeko nga munnabyabufuzi ow'enjawulo era omumuli gwa palamenti asaanye okulabirako kuba musajja muyiiya alumirwa omuntu wa bulijjo, so ng'azze atambulira wamu ne Mengo awatali nkukutu. Mayiga yavumiridde bannabyabufuzi abagabira abantu ebikutiya bya ssente mu kifo ky'okubasomesa okwekolera n'okubatandikirawo obukolero obutonotono n'agamba nti kino tekigenda kumalawo bwavu mu bantu. "Ekyetaagisa kwe kubayigiriza okwevubira okusinga okubagabira ebyennyanja olutata, nga Bukenya bw'atulaze ekyokulabirako," bwe yagasseeko n'asoomooza abakulembeze bakomye ebyobufuzi ebyawula mu mawanga n'enzikiriza olwokutumbula enkulaakulana. Bukenya mu kwogera kwe yasiimye enkolagana ennungi n'aba DP n'asonga ku ssentebe wa Wakiso, Matia Lwanga Bwanika nti agasse abantu n'okutumbula pulojekiti ezibayambye. Aba DP baakulembeddwa Ssaabawandiisi Mathias Nsubuga eyeeyamye okwongera Bukenya obuwagizi. Eyaliko Katikkiro wa Buganda, J.M. Ssemwogerere yabaddeyo. ROBERT. M. MUTEESA
|
0 comments:
Post a Comment