[UAH] Omusaayi guyiise mu Kampala-Tukooye
Omusaayi guyiise mu Kampala-Tukooye |
KAMPALA Poliisi bw'egaanye abawagizi ba Loodi Mmeeya Erias Lukwago okumuwerekera ng'agenda mu kakiiko akamubuulirizaako e Kololo ne bataama. Bavudde mu mbeera ne batandika okulwanagana nayo nga bagamba nti bakooye, okukkakkana ng'abantu bana bakubiddwa amasasi n'omulala n'attibwa bbaasi bwe yabadde yeetegula ekibabu. Embeera eno yalesse emirimu gisannyaladde, ng'amaduuka gaggaddewo gattako abantu okufa n'okukubwa amasasi, ng'eyasoose okufa ye Kizito Muhammed eyatomeddwa bbaasi ng'adduka ekibabu ate abaakubiddwa amasasi amannya gaabadde gakyatankanibwa, bali Mulago. Emberenge yayongedde okugaga poliisi bwe yakutte Lukwago n'eyaliko omukulembeze wa FDC, Dr. Kiiza Besigye olutalo ne lusajjuka olwabawagizi baabwe abeeyiye mu nguudo okutangira poliisi, wabula n'ebaanukuza masasi na ttiya ggaasi. Abawagizi baavudde; Mengo, Owino, ewa Kisekka, ppaaka ya takisi, Nakasero, Ben Kiwanuka n'ebitundu ebirala. Akavuyo kaabaluseewo luvannyuma lwa poliisi okukeera ewa Lukwago ng'eyagala emwetwalire mu kakiiko akamubuulirizaako n'agaana ng'agamba nti, "Nalondebwa bantu era nina okugenda nabo ne bapuliida bange." Ababaka abaabadde bagumbye ewa Lukwago okuli; Muwanga Kivumbi, Kasibante Moses, Mathias Mpuuga, Ken Lukyamuzi, Betty Nambooze n'abalala nabo baatabukidde poliisi. Bino bibaddewo nga Gen. David Sejjusa [Tinyefuza] amaze okusinziira ku BBC n'alangirira nga ye ne banne bwe bakooye embeera eri mu Uganda era ne bawera okugikyusa [Laba p.8]. Poliisi yakulembedde Lukwago, wabula abantu ne bagiremesa bwe yatuuse e Mengo ne beebaka mu luguudo nga baagala ababuuzeeko. Lukwago yayimiridde n'abawuubira olwo poliisi kwe kusumulula ttiya ggaasi n'amasasi. Yakutte Lukwago n'obukambwe n'emuteeka mu mmotoka yaayo okumutwala mu kakiiko ku Metropole Hotel e Kololo, ekyayongedde akavuyo mu kibuga. Lukwago mu kakiiko Yatuusiddwa mu kakiiko ku ssaawa 6 ez'omu ttuntu wakati mu by'okwerinda ebyakuliddwa Andrew Felix Kaweesi, wabula yagaanye okubaako ky'annyonnyola era n'asaba akkirizibwe okugenda mu ddwaliro kubanga yabadde ayisiddwa bubi. Yabadde ataaguddwa ng'amataayi n'amapeesa g'essaati gasumulukuse. Poliisi yamututte ku Case Clinic. Akakiiko eggulo lwe kaatandise okuwulira obujulizi okuva mu bakansala abawakanya obukulembeze bwa Lukwago. ROBERT M. MUTEESA NE RONALD KIZITO
|
0 comments:
Post a Comment