[UAH] Abayizi basoyezza Nnaabagereka ne Katikkiro ebibuuzo
Bya Lilian Nalubega ne Dickson Kkulumba
Abayizi ba Rainbow International School bakyalidde Nnaabagereka mu ofiisi ye ku Bulange e Mmengo n'abasomesa ku bintu bingi ebimukwatako n'Obwakabaka bwa Buganda.
Abaana bano abaabadde bawerekeddwaako abasomesa baabwe wakati mu kubannyonnyola ebimukwatako baamubuuzizza ebibuuzo bingi nga n'okusinga baabadde baagala okumanya lwe yafuuka Nnaabagereka ne by'akoledde Obwakabaka n'abantu baabwo. Kuno baagasseeko Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gwe baabuuzizza ky'ayinza okukola singa omuzigu abazingiza nga bali mu lukiiko ne Kabaka.
Emboozi ya Nnaabagereka n'abayizi nga bwe yabadde.
Oyagala okubeera Nnaabagereka?
Njagala
Kabaka aliwa?
Ali mu Lubiri kubanga gy'abeera.
Buzibu ki bw'osanze mu kukunga abantu ba Buganda?
Abantu ba Buganda si bangu singa oba tobatuukiridde, naye tufubye era tukyagenda mu maaso nga tubabuulira kw'ebyo ebiba byetaagisa okukola nga n'ebiseera ebimu tukyalira amasomero n'abantu mu byalo era tumala ne tubamanyisa ebirina okukolebwa.
Biki ebirabwako by'okoledde abantu ba Buganda ggwe nga Nnaabagereka?
Okuva lwe nnafuuka Nnaabagereka, nnatandikawo ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation mwe mpise okuweereza abantu. Nfubye okulaba nga ngunjula abaana abatalina mwasirizi abali mu byalo, abakyala okubamanyisa ku nkola ey'okuzaala n'okubudaabuda abali mu buzibu n'ebintu ebirala bingi nga tuzimbidde n'abaana abato amasomero naddala abo abasomera mu bugubi nga n'eky'okutumbula ebyobulamu n'obuyonjo tetukirese mabega.
Tubuulire ku Buganda
Buganda Bwakabaka obulimu abantu abaagala era abaaniriza abantu. Abantu baamwo balya mmere ya matooke, balimi, balunzi era baagala nnyo okulya enva endiirwa. Balina ennyambala ey'omulembe eweesa ekitiibwa ng'abakyala bambala gomasi ate abaami ekkanzu naye nga n'ebirungi ebirala bingi ebiri mu Buganda.
Obwakabaka bwa Buganda bwenkana ki obukulu?
Bulina emyaka egisoba mu 700
Wafuuka ddi Nnaabagereka?
Mu 1999.
Ekisaakate kimaze bbanga ki nga kigunjula abaana?
Emyaka musanvu kati.
Wafumbirwa ddi?
Mu 1999.
Olina abaana bameka?
Mukaaga
Kabaka amaze myaka emeka ku Bwakabaka?
Emyaka 20 kati.
Abaana bwe baamalirizza Nnaabagereka ne babuuza Katikkiro, Peter Mayiga ebibuuzo mu bukulembeze bwe okwabadde n'okwagala okumanya emyaka gye, gye yagambye nti abulako katono okuweza 50.
Ssinga muba mu lukiiko ne Kabaka ne wabaawo omuntu omukyamu abayingirira mukola mutya?
Tulina abakuumi abamala era abeetoolodde wonna. Ssinga oli kamutanda n'atwang'anga afuna obuzibu kubanga bamukwata ne bamusiba.
Kabaka alina embiri mmeka?
Nga 10.
Omaze bbanga ki ku Bwakatikkiro?
Kati mpezezza omwezi.
Nga tonnaweebwa bwa Katikkiro, obadde okola mulimu ki?
Mbadde Minisita wa Kabaka era ndi munnamateeka omutendeke.
Tolina bizibu by'osanze mu buweereza bwo nga Katikkiro?
Okuba Katikkiro wa Bugnada si kyangu kubanga ebizibu byo bingi ddala naye ate era tewali muntu atalina bizibu kyokka tufuba okubigonjoola
Oli munnamateeka w'ani?
Ndi munnamateeka wa Kabaka.
Olina abaana bameka?
Basatu.
Ozaalibwa wa?
Masaka mu Buddu mu ddwaaliro lya Masaka Hospital.
Kizibu okukolera e Mmengo?
Si kizibu okukolera e Mmengo era nga bwe kiri buli muntu gw'osangayo musanyufu era banyirivu.
0 comments:
Post a Comment