UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] Amalwaliro g’e Mityana gali bubi’

just passes a 214 b supplementary budget for statehouse!!!! priorities

Amalwaliro g'e Mityana gali bubi'
May 27, 2013
Akulira eddwaaliro lye Mwera, Dr. Bukenya ng'alaga ebitanda okutali mifaliso.



Bya KIZITO MUSOKE

EMBEERA amalwaliro g'e Mityana gye galimu yeeraliikirizza abatuuze, anti ebizimbe bikaddiye, ebikozesebwa bitono ddala ate nga n'abasawo tebalina we basula.

Eddwaaliro ekkulu  ery'e Mityana

 
 
Kansala Fred Wotonnava, akiikirira Mityana Town Council era ng'atuula ku kakiiko akafuzi ak'eddwaaliro lino agamba nti baalina essuubi nti eddwaaliro ligenda kuzimbibwa ng'omulimu gwali gwakusasulirwa bbanka y'ensi yonna kyokka ennaku ze bawa okutandika ate nga bongerayo.
 
Wotonnava agamba nti enju abasawo mwe basula ziri mu mbeera mbi ng'ebizimbe bitonnya, kaabuyonjo ntono nga teririna na bbugwe alyetoolodde nga n'emmotoka ezitambuza abalwadde teziriiwo.  Kuno kw'oyongereza ekizibu ky'amasannyalaze agavaako buli kiseera.
 
Eddwaaliro lya Mwera Health Centre
 
Lino nalyo embeera yaalyo yeeraliikiriza. Mwera Health Centre lye litwala essaza ly'e Busujju. Alikulira, Dr. Michael Bukenya agamba nti baabongera abasawo kyokka ekizibu tebalina we babasuza.
 
Dr. Bukenya agamba nti ekifo ekirongoosezebwamu  kibadde tekikozesebwa olw'ebbula ly'abasawo naye kati batandise okukikozesa kyokka tekirina masannyalaze kuba babanjibwa obukadde obusoba mu bubiri nga n'aba-sawo tebafunanga musaala okuva lwe baa-weebwa emirimu mu January.
 
Eddwaaliro teririna kaabuyonjo zimala n'ebitanda abalwadde kwe balina okwebaka tekuli mifaliso. Ekirala bwe butaba na ttanka z'amazzi ng'eziriwo zaabomoka ate n'obukuumi tebalina bumala.
 
Dr. Bukenya annyonnyola nti ssente eziweebwa eddwaaliro ntono nnyo okusinziira ku mirimu gye zirina okukola okuli okulirongoosa, okusasula abakozi abamu, okutambuza abasawo mu byalo n'ebirala.
 
Amyuka ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana, Israel Lubega Maaso yasabye gavumenti okubadduukirira mu bwangu kuba embeera y'amalwaliro mu disitulikiti mbi gonna geetaaga kuddaabirizibwa.
 
Eddwaaliro ly'e  Miseebe Health Centre 2
 
Lino lisangibwa mu ggombolola y'e Bulera. Alikulira, Kevin Wamimbi, agamba nti tebalina nnyumba z'aba-sawo era beetaaga amasannyalaze g'enjuba okubayamba ekiro.
 
Atwala ebyobulamu mu disitulikiti eno, Dr. Fred Lwasampijja yategeezezza nti eky'abasawo abamu obutafuna musaala, kizibu kya ggwanga lyonna ng'ensonga eno baagituusa dda mu minisitule y'abakozi.
 
Ate ku ky'ekitongole kya National Medical Store, okugamba nti disitulikiti tezinona ddagala, yagambye nti bo nga Mityana kino si kituufu, kuba batumya eddagala buli luvannyuma lwa myezi esatu. 
 
Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu, Asuman Lukwago yategeezezza nti ekibadde kikyasibye eddwaaliro ly'e Mityana ye bbanka y'ensi yonna okukkiriza omulimu gw'okuzimba okutandika naye nga kkampuni ezi-
naakola omulimu baazifuna.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers