UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] okusaaga kukomye; Katikkiro alayidde ku Federo, abatakola n’abalemesa Kabaka

okusaaga kukomye; Katikkiro alayidde ku Federo, abatakola n'abalemesa Kabaka

Katikkiro Charles Peter Mayiga alayide okufafagana n'omuntu yena anekiika mu ddembe lya Ssabasajja Kabaka okuli okuyisa amateeka agatyobola namulondo, okumulemesa okwetayiza mu nsiiye saako  okutondawo obufuzi  obwensikirano mu masazza ga Buganda okumunafuya.


Mukwogera kwe okusoose mu Lukiiko lwa Buganda nga Katikkiro, Mayiga yagambye waliwo abantu abagenda mu n'okuwagawaga abantu abamu mu masaza agenjawulo basobole okwekutulako ku Buganda n'alabula abakikola nti obukulembeze bwe sibwakugumikiriza bikolwa bino.


"Nze siri muvumi wa bantu era buli muntu muwa ekitiibwa kubanga bwotawa balala kitiibwa nawe tebakikuwa, naye omuntu bwaba ayagala okunzigya emize alumbagane Kabaka. Ekyo nkogede era nja kukikola," Mayiga bweyalayide n'ayongerako nti, "Sirina mundu wade emizinga naye nina obwesede bwa Baganda ne Katonda ali wagulu ennyo".


Yagambye nti amaliride okulwanirira enfuga ya federo, Buganda egabane obuyinza ne gavumenti ya wakati mu nkola y'emirimu , okununula ettaka lya Buganda, embuga z'amasaza n'amagombolola  n'okusasula ebanja lya Buganda obuwumbi 20.


 Mayiga yakaatiriza obukulu bw'okubeera abantu abayiiya, abavumu era abamaliride okuwereza obuganda n'agamba nti omulembe gwe sigwakuguminkiriza batakola. Yagambye nti wateredwawo enkola empya okuli wofiisi ya kalondoozi w'emirimu e Mengo n'enkola y'obwanakyewa yakukoma.


"Ssabasajja yampade tiimu olubabu  era tetwagala ebula lya sente kulifuula luyimba. Twagala abakulembeze abayiiya era tumaliride okuwereza," Mayiga bweyategezeza. Yayongedko nti , "ffe e Mengo tetuze kunonyayo bitibwa, tuzze kuwereza".


Mayiga byagenda okutandikirako


Mayega obweda akozesa eby'okulabirako ebyenjawulo yagambye nti mu nkola empya etuumidwa 'Enkola y'omulembe omugya' bamaze okusengeka enkola enegobererwa saako n'ebintu ebikulu byebagenda okutandikirako.


Okusinzira ku nteekateeka empya, obukulembeze obupya bwakutandikira ku kunyweza kitiibwa kya namulondo, okuzaawo  amasiro ag'e Kasubi n'e Wamala obutasuka mwaka gujja, okumaliriza ekizimbe ekiri mu lugya lwa Bulange, okutereza enkola y'emirimu e Mengo  n'okunyweza obumu mu Buganda.


"Sigenda kuguminkiriza wade omuntu omu bwati okukozesa erinya lya Kabaka  nga byakola abikolera wansi wa meeza,"Mayiga bweyakaatiriza.


Enteseganya ne gavumenti


Ku ky'okuteesa ne gavumenti ya wakati  ku bintu bya Buganda, Mayiga yagambye nti abantu bakukoowa kubanga tekulina kalungi kukavudemu wabula wakukuwa omukisa singa kinaaba kyetagisiza.


" Okuteesa kiyamba okuwulira oli by'agamba naye tayinza kukuwaliriza kubigenderako.  Bwewabawo omukisa tubawulirize kubanga nze tewali kyenyinza kutambuza nga mukamawange [Kabaka] tamanyi".


Yasekerede abalemede ebintu bya Kabaka okuli embuga z'amasaza n'abaganye okusasula amabanja ga Buganda n'abagamba nti basanye bakimanye nti Buganda lwazi.  Yalabude abazimba ku ttaka lye ssaza e  Ebugerere  nti esaawa yona bigenda kukyuka n'ebizimbe tubitwalireko.


" Awakanye ekyo agende abuuze Amin eyazimba Bulange plaza ng'alowooza nti teritudira. Omulala n'agaana okusasula sentezo ng'asula mu njuyo kati bw'omusanga n'otamulamusa oba mukyamu ki? Ate bwawulira nti okyaziza omugenyi ng'akubira essimu nga gwe  era okwata eyo"…hahaha…


Mukwogera kwe okwakuluingude esaawa 3 yavumiride nyo abakulembeze abefunyiride okwawulayawula mu bantu nga bakozesa amadiini n'amawanga saako eby'obufuzi nti kino tekirina gyekitwala ggwanga. 


FRANCIS NDUGWA NE ROBERT.M MUTEESA

Essomeddwa Emilundi 2 2 Ebirowoozo 0 0Tewali Birowoozo Ku Mutwe Guno !!

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers