[UAH] Omubaka wa Pulezidenti akulembeddemu bawanyondo okumenya Olubiri lwa Ka
Banange even this man ,has guts to break the mujjaguzo, what does this man do and what does he want from Buganda? look at the goon really ,he looks jobless and wants be a court bailiff |
Kabowa Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala Hashaka Mpimbaza akulembeddemu bawanyondo nga bayambibwaako poliisi okumeyanya Olubiri lwa Kabaka Mujaguzo e Kabowa era nga bawonedde watono okugajabulwa abatuuze. Bawanyondo ababadde babagalidde ensululu n'embukuli z'emigo bazinzeeko Olubiri lwa nebatandika okukona amayumba nga bwebakasuka ebintu bya bantu ebweru ekyagye abatuuze mu mbeera nebabagulako olutalo okukakana nga baduse. Mpimbaza ne banne babadde bakulembedwa omuvubuka eyategerekeseeko erya Lusambya alumiriza nti ettaka lino lirye nga lyamuweebwa kitaawe Wakufumbirwa Simon omu ku bagoma ba Kabaka abali mu Lubiri luno kyokka bweyayitidwa okukasa kino yaganideyo ekyagye abatuuze mu mbeera okwagala okugajambula Lusabya poliisi nemidusa. Kino wekigidde nga bakamala okuwamba omutaka Mukasa Wagaba Kimomera atwala Olubiri lwa Mujaguzo Namanyonyi okumala ennaku ssatu nebamuteesa omukono kukiwandiiko kyatategedde ku mudumu gwemundu ate ng'asibidwa kantuntunu oluvanyuma nasuuribwa e Mukono gyeyasangidwa. Wagaba agamba okuva Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyava okulambula Olubiri luno bali ku bunkenke bawambibwa kwosa okutisibwatibwa okutibwa kwosa abantu abatamanyidwa okutandiika okupima ettaka ly'Olubiri. Guno sigwemulundi ogusoose bawanyondo okukona amayumba ku ttaka naye waliwo enyumba n'ezikalina ebyakonebwa abatuuze nga byali bizimbidwaako mu bukyaamu. Kivumbi keneth |
0 comments:
Post a Comment