[UAH] Omusajja agattise omwana ne ssenga we e Kibibi
Omusajja agattise omwana ne ssenga we e Kibibi
Jun 01, 2013
Nabakooza (ku ddyo) ne muwala we Nassejje ku poliisi.
SSENGA atutte muwala we ku poliisi ng'amulumiriza okumwagalira bba n'amuzaalamu n'omwana! Amina Nabakooza yaloopye Madina Nassejje (nga bonna b'e Mirembe-Kalamba) ku poliisi e Kibibi mu Butambala lwa kumwagalira bba, Badru Kalule ng'omuwala yeefuula azze okukyala era kano ke kakodyo bulijjo mw'ayita okujja okufuna obuyambi bw'omwana.
Nassejje yagambye nti talina kye yejjusa kuba bba wa ssenga we naye abeera mwami we! OC Benedict Igama n'akola ku nsonga z'amaka, Sulait Semakula bakkakkanyizza ababiri bano ne babasaba balindeko Kalule (kazaalabulwa) lw'alikomawo batereeze ensonga zino.
0 comments:
Post a Comment