[UAH] Omuyimbi Roy Kapale bamubise
Bya JOSEPHAT SSEGUYA
ABANTU abatannategeerekeka babise omuyimbi Roy Kapale nti yakwatiddwa n'enjaga e China ne bamutta. Guno gwe mulundi ogwokubiri nga bamubika.
Kyokka akulira Poliisi y'ensi yonna mu Uganda, Asan Kasingye bwe yatuukiriddwa yagambye nti naye yabadde abiwuliddeko kyokka akyagezaako okukolagana ne Poliisi y'e China ategeere ekituufu.
N'agamba nti naye singa kyabadde kituufu yandibadde yakitegeerako dda nti yakwatibwa okuggyako nga yakyusa obutuuze ne yeeyiiya mu Amerika gy'abadde okumala emyaka.
Eyali muganzi wa Kapale, Rebecca Jjingo, bwe yabuuziddwa yategeezezza nti naye yabadde abiwuliddeko kyokka n'agamba nti tannafuna muntu yenna ku mikwano gye mu Amerika amukakasa ku nsonga eno.
Wabula abamu ku Bannayuganda betwogedde nabo e Chicago Kapale gy'abadde okumala emyaka egigenda mu 10, baagambye nti amawulire gano galabika simatuufu kubanga babadde bawuliziganya naye okutuukira ddala wiiki eno ng'ali mu Amerika.
Abalala abagamba nti Kapale alina ennyimba ze yaakafulumya z'ayagala okuweereza mu Uganda nga yandiba nga ye yeebika ng'anoonya engeri gy'ayingira mu katale ka Uganda kubanga alowooza nti abantu baamwerabira dda.
Wabula wandibaayo abantu abanyumirwa okubika abayimbi nga bazze babika ne Cute Kaye.
0 comments:
Post a Comment