{UAH} Abeesimbye mu Lukwago bibasobedde-Balemeddwa
Abeesimbye mu Lukwago bibasobedde-Balemeddwa |
Bakansala abaagala okugoba Loodi Mmeeya Erias Lukwago bongedde okusoberwa olwobulippo obwetobese mu kaweefube waabwe. Lukwago olumaze okutunula mu bino n'abakudaalira nti, "Nze ndi munnakampala, abo tebansobola. Baayingirira omuzannyo gw'ebyobufuzi n'amateeka bye batategeera, kati bibakyukidde batandise n'okwerumiriza. Mbakakasa nti (Minisita Frank) Tumwebaze yansanga mu Kampala era agenda kundekamu." Abaagala okugoba Lukwago bakubiddwa ekkonde okuva mu kakiiko k'ebyokulonda bwe kaziimudde okusaba kwa dayirekita Jennifer Musisi okutegeka amangu okulonda okujjuza olukiiko lwa bakansala bawere 35 okuva ku 31 abaliwo kati. Okusaba kwa Musisi eri akakiiko kwaddirira Omulamuzi Vicent Zehurizike okugoba omusango Lukwago mwe yali awakanyiza akakiiko akamunoonyerezaako kyokka n'agamba nti ebinaakavaamu nga biragira okugoba Lukwago tebijja kusoboka ng'olukiiko lwa KCCA terunnajjuzibwa. Akakiiko emirimu kagimala nga 5 ogwomunaana. Bye kanaazuula birina okussibwa mu nkola mu nnaku 14 zokka. Bwe zisukkawo Lukwago ng'addamu akajjala mu ntebe ye nga tewali amuteganya. Ebiriwo biraga nti kino tekikyasobose. Akakiiko k'ebyokulonda kagaanye okutegeka okulonda ng'amateeka tegannakolwa. Mu palamenti, minisita wa Kampala Tumwebaze yatutteyo ebbago ly'etteeka ku kulonda bakansala kyokka lyabaddemu ebituli era omumyuka wa sipiika, Jacob Oulanya n'alisindika mu kakiiko akakola ku by'amateeka. Oluuyi oluwakanya Lukwago lwannyogoze olwebyavudde mu kakiiko k'ebyokulonda, bo bennyini ne Musisi bwe bazitoowereddwa okunnyonnyola ne beekuba endobo nga babuuzibwa lwaki baagala agobwe. Abamu beeyisizza mu ngeri ey'okwekandagga wakati mu kusoberwa. Waliwo n'abakkiriza nti baali bakwatiddwa mu bulyi bw'enguzi. Lukwago asuubirwa leero okwewozaako ku nsonga ezimuvunaanibwa. Poliisi yabadde emuyise ku by'okutuuza olukiiko lwa bannamawulire ku Katonga Road nga bayita mu 4GC kyokka baayongezzaayo simanisi oluvannyuma lw'okumanya nti Lukwago ali mu kakiiko leero. Munnamateeka wa Lukwago era omubaka wa Busiro East mu palamenti, Medard Sseggona era nga ye minisita w'ensonga z'amateeka ku luuyi oluvuganya gavumenti yagambye nti balinda kinaava mu kakiiko akakola ku by'amateeka ga Tumwebaze, gasangiddwamu ebituli bingi era tegali mu mutima mulungi. Ate ab'ekibiina ekigatta balooya ekya Uganda Law Society, nga bayita mu ssaabawandisi wa ULS, Nicholas Opio kyategeezezza nti okusindika mmemba mu lukiiko lwabwe bajja kusooka kwekenneenya mateeka aganaagobererwa mu kulonda. Bakansala balina kubeera 35, kati bali 31. Lukwago yalumirizza Tumwebaze okulemererwa okukola emirimu n'adda mu ntalo z'ebyobufuzi. ROBERT MWANJE |
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans and Africans in general. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment