UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Engeri Kabaka gye yeegatta mu lutalo lw’ekiyeekera

Engeri Kabaka gye yeegatta mu lutalo lw'ekiyeekera
Kampala | Jul 02, 2013
Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi IImu biseera we yagendera mu ddwaaniro.

 

 

 

 

 

BUKEDDE akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga twetegekera amattikkira ga Ssaabasajja ag'omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013.

Omusasi waffe ANTHONY SSEMPEREZA alaze engeri Omulangira Mutebi gye yakwataganamu n'aba NRM n'ayambako mu lutalo lw'ekiyeekera.

BRIG. Ali Fadhul, eyakulira akakiiko akaakomyawo enjole ya Ssekabaka Sir Edward Muteesa
agamba nti ennyonyi omwali enjole eno yamala mu bbanga essaawa eziwerako nga babagaanyi okugwa ku kisaawe e Ntebe olwa bbomu eyali etegeddwa.

Wabula oluvannyuma, nga buli omu atidde nnyo, enjole yatuusibwa bulungi e Ntebe. Ayongerako bwati:

Twava e Ntebe ng'abantu bangi ne tugitwala e Kasubi naye ng'abantu bangi nnyo ku kkubo. E Kasubi twasangayo abantu bangi.

Mayanja Nkangi anyumya: Ng'enjole emaze okutuuka e Kasubi twakola emikolo gy'okubikka akabugo emiggya.

Kyokka nasooka kutya kukola mukolo guno kubanga nnali mmanyi kye kitegeeza eri Buganda n'obukulembeze bwa Amin.

Okubikka akabugo nnali mmanyi kye kitegeeza anti kuba kuzzaawo Bwakabaka kyokka Amin yali tamanyi naye nga ntya okukikola.

Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi II

Kyokka waliwo mukyala w'Omutaka Kabazzi Miti ayitibwa Mildred Lwanga gwe ategeezaako kye nnali ntegese okukola, omukyala ono yalina mukwano gwe ayitibwa Abaasi eyali mukwano gwa Amin era ono ye yasomesa Amin okukuba ssabbaawa.

Ono ye yali asobola okutusabira olukusa ewa Amin atukkirize tukole omukolo gw'obuwangwa ogw'okubikka akabugo.

Twakola ekigango e Kasubi olwo Mutebi n'abikka akabugo mu maaso ga Mugema eyakola omukolo gwe era n'Omutaka w'Obutiko naye yakola emikolo gye.

Omukolo guno olwaggwa ne nkwata Omulangira Mutebi ku mukono ne mulaga eri Obuganda obwali bukung'aanidde e Kasubi nti, "Kabaka wammwe, Kabaka wange wuuno!"

Nawulira essanyu lye ssiwulirangako, kubanga nnamanya nti Obwakabaka buzzeewo wadde nga tebwaddawo mu kaseera ako naye ye Kabaka yali afunise.

Nze nga Katikkiro nasanyuka nnyo kubanga Obwakabaka bwali buvuddewo nga nze Katikkiro, kino kyali kinnuma nnyo.

Ssaabasajja ng'abuuza ku bantu be ng'amaze okutuula ku Nnamulondo.

Ku mukolo gw'okubikka akabugo, Kasujju Lubinga yennyini yaliwo n'akola omukolo gwe ogw'okubikkisa akabugo, Mugema naye yaliwo n'akola emikolo gye.

Muky. Joyce Mpanga agambye nti, "Okugalamiza enjole ya Muteesa nga kuwedde e Kasubi, twagenda e Baamunanika okussaako Kabaka.

Eno Mugema yali yatuuse dda era n'akola emikolo gyonna gy'akola ku Kabaka.

Yagikola okwali n'okutuuza Kabaka Mutebi ne Lubuga bwe Agnes Nabaloga era n'omuwala embeerera Nanzigu (ono aba Wambogo) naye yaliwo n'akola emikolo gye ku Kabaka.

Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi ne basajja be. Ali mu gaalubindi ye Sgt. Kifulugunyu.

Emikolo gyonna egyakolebwa e Baamunanika tegyaddibwamu mu 1993, baatikkira Kabaka e Naggalabi n'okumutuuza ku Nnamulondo, okugeza ffe Abenseenene Kanyerezi yakwasa Kabaka ekyanzi n'akakomo guno tegwaddibwamu."

Nze nnayingiza Kabaka mu lutalo – Nagenda
EYALI Katikkiro wa Buganda, Jehoash Mayanja Nkangi agattako: Emikolo gy'e Baamunaanika
nga giwedde, natwala Kabaka Mutebi ewa Idi Amin.

Twamusanga mu Conference Centre n'ambuuza nti, 'Kati kiki kye tuba tukola?' Namuddamu nti Abaganda bawe Kabaka waabwe.

Ko ye nti 'Kale genda ong'ambire Abalangira bonna n'Abambejja bajje twogeremu nabo'.

Enkeera Abalangira n'Abambejja baagenda okusisinkana Amin kyokka Amin Obwakabaka teyabuzzaawo.

Mu budde obwo waaliwo Abaganda abamu abaali tebaagala Bwakabaka kuddawo kuba baali bajja kufiirwa ebifo. Abo be baawanga Amin amagezi ku kiki ky'alina okukola.

Abantu b'engeri eno n'ekiseera kino bakyaliwo abawa Pulezidenti amagezi amabi! Oluvannyuma Kabaka yaddayo e Bungereza okwongera okusoma.

Ssaabasajja ng'amaze okutuula ku Nnamulondo.

Asisinkana aba NRM

John Nagenda, omuwabuzi wa Pulezidenti ow'ebyobufuzi anyumya bwati ku ngeri Kabaka Mutebi gye yakwataganamu n'aba NRM:

Kabaka okukwatagana n'aba NRM nze namuleeta. Nze eyannyingiza mu NRM yali omugenzi Eria Kategeya, eyantuukirira nga ndi mu buwang'anguse e Bungereza gye namala emyaka egisoba mu 20, era eno gye nnamanyira Omulangira Mutebi.

Nga maze okuyingira NRM, waliwo olugambo olwaliwo nti Abaganda baali baagala kulaba ku Kabaka.

Natuukirira Omulangira Mutebi ne mmusaba oba nga yandyagadde okugendako mu Uganda.

Bwe yakkiriza olwo ne tukola entegeka ejja mu Uganda. Bwe twaba e Bungereza twatuukira Nairobi gye twasisinkana Eria Kategeya ne tujja naye ne tuyitira e Rwanda ne tugenda e Kabale.

Eno gye twava ne tugguka e Kasese awaali akakiiko akafuzi aka NRA (High Command) era wano we twasanga Museveni.

Museveni yalagira Kategaya okusigala ne batuwa Amanya Mushega gwe twatambula naye ne tugguka e Masaka. Olwava eno ne tudda e Mityana, bwe twatuuka e Mityana nze nafuna omukisa ne ng'enda ndaba ku ssamba yange ey'amajaani e Namutamba naye nasanga yazika dda!

Ssaabataka ng'akuba ku Mujaguzi Kawulugumo.

Kyokka nga buli we tutuuka ng'abantu basanyufu nnyo okulaba ku Kabaka Mutebi, yabawuubiranga ne basanyuka nnyo.

Oluvannyuma tweyongerayo e Kyererezi awaali eddwaniro ery'amaanyi (Frontline), gye twasanga abalwanyi.

Nabo bwe baalaba ku Kabaka baasanyuka nnyo. Tweyongerayo ku Katonga awaali olutalo kafungulankete, nawo Kabaka n'abuuza ku balwanyi, baasanyuka nnyo okumulabako era amaanyi ne gabeeyongera nnyo olw'okumanya nti naye ali wamu nabo.

Oluvannyuma lw'omwezi nga mulamba ng'Omulangira Mutebi atalaaga eddwaniro, twaddayo e Masaka eno gye twava ne tuddayo e Bungereza.Ebbaluwa ya Nadduli eri Kabaka Mutebi.

Nagenda anyumya ku bbaluwa eyazaala ebitukula:
Tuba tuddayo e Bungereza, Hajji Abdul Nadduli yajja n'ebbaluwa n'agimpa ngiwe Kabaka nga tutuuse awalungi.

Naye tuba tuddayo, nga tusiibula, Amanya Mushega n'ang'amba nti, 'Bakuwadde ebbaluwa ya Kabaka naye mbadde njagala kumanya ku bigirimu!'

Nakkiriza ne ngimuwa n'asomamu, bwe yamala okugisoma ne ngimulekera, nze ne nneeyongerayo ne Kabaka!"

Hajji Nadduli anyumya ku bbaluwa eyo:
Ebbaluwa gye nnali mpandiikidde Kabaka nagikwasa Nagenda nga tuli mu nkambi y'e Katalekammese.
 Nnali ngiwandiikidde Kabaka yekka! 

Abaaliwo nga ngiwa Nagenda kwaliko omuduumizi w'amagye Joramu Tugume, Amanya Mushega, Byemalo, Omulangira Mawuuma.

Bwe baamala okugisoma n'alabira awo ng'abakulu abo ng'ogasseeko Kiiza Besigye bankutte bansibye!

Ebyali mu bbaluwa

Nasooka kweyanjulira Kabaka, nti ndi mutabani wa Nadduli e Kapeeka, muzzukulu wa Ssempa Abdallah Gabindadde, mutabani wa Kyanjo.

Nnamutegeeza nti tusanyuse nnyo bwe tumulabyeko ng'azze mu ddwaaniro, ng'akubye ku ng'oma Ggwangamujje, nti era olutalo lwe tulimu terulese muto na mukulu, mwami na musajja, alina olubuto n'atalina.

Nnamutegeeza nti kati nno nga bw'ozze mu lutalo luno yimukiramu odde ng'olutalo luwedde tubeere wamu okugguka ettale.

Kino ndowooza bwe baakisoma ne balowooza nti mpita Kabaka ajje afuge, ne bankwata ne bansibira mu nnyumba okumala ebbanga

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers