UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Mengo etabukide Muhwezi-the thieves continue to steal even where there is nothing t

Mengo etabukide Muhwezi

 


KAMPALA


Ab'ekitongole kya Buganda Land Board [BLB] ekivunaanyizibwa ku ttaka ly'Obwakabaka, balumirizza eyaliko minisita w'ebyobulamu, Brig. Jim Muhwezi nti yeekobaanye n'aba LC mu Kyamula zooni e Buziga ng'agenderera okwekomya ettaka lya bamulekwa.


Akulira ettabi lya BLB e Makindye, Steven Nyombi yagambye nti ettaka eriweza yiika ebbiri, Muhwezi ly'akaayanira limu ku eryo Kabaka lye yawa musajja we George Ssekajugo nga mu kiseera kino lyakyusibwa ne lidda mu mannya g'omusika, James Mubiru ng'ono ye yakwasibwa obuyinza okulikulaakulanya.


"Kyennyamiza okulaba nti omuntu ali ku ddaala erya Muhwezi, yeeyita nnyini ttaka lino era n'akiteeka ku Kabaka nti ye yalimuguza ekikyamu," Nyombi bwe yagambye n'alumulumiriza nti abadde atandise okuzimba akayumba ku ttaka lino ng'atutteyo n'abaserikale balikuume.


Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti enkulu ne w'ofiisi ekola ku nsonga z'abafu, ettaka lino Muhwezi talirinaako bwannannyini era n'abo b'agamba nti be baalimuguza tebamanyiddwa ku kitundu wadde mu b'enju y'omugenzi Ssekajugo.


"James Mubiru nga ye musika wa George Ssekajugo akakasiddwa ng'omusika era nannyini w'ebyobugagga byonna ebyali ebya kitaawe," ekiwandiko kya kkooti enkulu ekyafuluma nga 12/7/2005 nga kiriko omukono gw'omulamuzi omukulu Remmy Kasule bwe kinnyonnyola.


 Kigambibwa nti  Muhwezi era nga ye mubaka w'essaza ly'e Rujumbula mu disitulikiti y'e Rukungiri,  yalemesa bamulekwa okuzimba ku ttaka lino era n'akugira aba BLB okwerula empenda ng'akozesa abamu ku ba LC.


Wabula  looya wa Muhwezi, Kalule Mukasa yagambye nti omuntu we ettaka yaligula ku  William Kitimana mu 1995 n'asambajja ebyogerwa bamulekwa. Yategeezezza nti ssentebe w'ekyalo abamanyi bulungi nti be bannannyini ttaka lino n'awera nti kikafuuwe Mengo okulibasuuza.


"Bwe baba bawakana tuddeyo mu kkooti tewali nsonga lwaki bazungira eyo ku kyalo. Be baateeka omusango mu kkooti bajje tubamegge era tulitwale," Mukasa bwe yagasseeko.


 Okunoonyereza okukoleddwa mu kitongole ekikola ku mivuyo gy'ettaka kulaga nti enkola y'okunyaga ebintu bya bamulekwa ng'abakikola bayita mu ba LC, kweyongedde mu Buganda n'awalala nti era awamu bagufudde mulimu.


Ekyewuunyisa kwe kuba nti olukiiko lw'ekyalo lwe lumu olwawandiikira ofiisi ekola ku nsonga z'abafu [Administrator general's office] nga lukakasa nti James Mubiru ye nannyini ttaka lino era omusika w'omugenzi Ssekajugo eyafa mu 1987 ate lwe lumu olugamba nti ettaka lya Muhwezi.


"Ssentebe yasooka n'agamba nti tutunde ettaka lino ne ŋŋaana kubanga mwalimu ebiggya bya kitaffe n'abantu abalala naye kyatwewuunyisa okulaba ng'akyuse n'atandika okugamba nti ettaka si lyaffe era n'abafu ne babasimulayo ne babayiwa mu nnyanja," Omusika, James Mubiru bwe yategeezezza.


Ye omwogezi wa BLB, Abby Ntambi yagambye nti obukiiko bwa LC tebulina buyinza ku ttaka lya Kabaka era n'alabula abeeyingiza mu mirimu gya BLB okukikomya.


ROBERT MWANJE

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers