UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} OMULOGO YALOGA OMULOGO: TEREZA NAKAKANDE BYAMUSALA!



OW'ENNEEMA ENTUKUVU DDALA
ERA OMUWANDIISI W'EKIWANDIIKO KINO
Y'OMU YE
MUKYAALA MARGARET VERONICA NABAKOOZA,
KATONDA AFIRIKA, MUKYAALA WA KATONDA.

ERI:  
1. KELEZIA KATULIKA
2. BUGANDA
3. FAMILE Y'OMUGENZI JOSEPH L. KAKOOZA
KOPPI:
1.TEREZA NAKAKANDE
2. ENSI YONNA.
 
Mega Magguleeti,
Katonda Omega Omwaagale wa Katonda,
MUKYAALA WA KATONDA WE.
 
February 2014
OMULOGO YALOGA OMULOGO!
TEREZA NAKAKANDE BYAMUSALA!
 
 
Omugenzi Mukyaala (Mrs) Margaret G.Kakooza, Maama Wange omwagalwa yatuzaala abaana kumi nababiri:  Abawala mukaaga, abalenzi mukaaga nga mulimu n'abalongo (Babirye ne Kato) nange Katonda Mukyaala wa Katonda.  Nze ndi wa mukaaga mu makkati ddala.  Abanzirako bali mukaaga.
 
Omugenzi Kitange Omwaami Joseph L. Kakooza yali musajja mukozi ddala ate eyenyumiriza mu maaka ge.  Yali wa buvunanyizibwa obutalojjeka era ng'atwaagala nnyo!  Teyatanga kutukakasa nti buli kyeyakolereranga yali akikolelera ffe, abaana be.
 
Wabula amaka ga bazadde bange nga bwegaali maka matukuvu ag'obufumbo obutukuvu, gayigganyizibwa nnyo sitaani!  Bikira Maria yakaka bazadde bange kyebayita OKUJAGYAAMYA n'ajula n'okubalemesa ensi!  Mbu tebaalina kutega Maka Matukuvu gatyo nga yye yakolerera bya sitaani mu nsi!  Nnali
 
…page 2/…
… page2 …
 
 
OMULOGO…
 
 
muto, naye nnaliwo era bazadde bange bino babinyinnyonnyola nebantegeeza nti ekibi ekyokujagyaamya kibi kya sitaani kyayagala okuwaayiriza abakolerera
obufumbo obutukuvu!  Nebankuutira nti sikikkirizanga mu bufumbo obwange obulibera obutukuvu mu Katonda Wange.
 
Oluvanyuma nga wayisewo ebbanga, ne Katonda n'ayongera okubin'gonjolera n'okunkakasa n'okunjoleka AMAZIMA nti Bikira Maria  ye sitaani era nti ensoonga lwaaki tayagala maka matukuvu, lwakuba ge gazikiriza sitaani!  Bikira Maria akaka abafumbo okuzaala ebweru w'amaka gaabwe, alyooke mbu abalekere ku mirembe!  Sso ng'aba abalimba bulimbi.  Mbu afune ekiribaswaaza mu dda!  Tekyewuunyisa kino ku bazadde abazaala nze Mukyaala wa Katonda, anti nze muyamba ku mirimu gye egy'okudduukirira abafumbo, naddala abaagalanira ddala mu bufumbo obutukuvu, obutali bwa bukuusa bwa sitaani (mwe balayirira mu maaso ga Katonda, mu Kelezia ne mpeta sso ng'ate mu maka gaabwe bakola bya sitaani)!
 
Maama wange yakooyesebwa nnyo Bikira Maria era yalwa ddaaki naavira ddala ne mu ddiini y'obukatuliki olwa Bikira Maria okumuyigganya olutata:  Mbu yye (Bikira Maria) teyakolerera maka matukuvu, n'olwekyo ne Maama wange yali talina kugakolerera!  Wadde nga abazadde bange tebayawukana mu mwoyo (baasigalira ddala nga bafumbo), naye baayawula enju!    Okukaka kwa Bikira Maria tekwaakoma awo!!  Bikira Maria yalwaana nnyo ng'ayagala Kitange awase omukazi omulala nga Mmange tannadda waka!
 
Awo Tereza Nakakande we yajjira mu maka gaffe!
 
Kyokka era Bikira Maria yasigala  ayigganya Kitange! Namuyigganya, namutuusa ewala!  Nga takyalina nabwakola kukalimu naakamu.  Buli lweyayagalanga okubuuza obubuuza ku Maama wange, ng'amusula ku zi akisidenti ze motoka oba okumulumya mumubirigwe n'amutuusa ne ku kitanda e Mulago mu ddwaliro.  Taata wange yatambulanga n'olumbe bulijjo!  Yabanga mulwadde ekifuba n'obulumi bw'omutwe (migraine) nga bya lukonvuba.  Mu bukulu yafuna n'olumbe lwa pulesa (hypertension).  Ekyewunyisa Kitange yaguma nasigala mu ddiini y'obukatuliki.  Yantegeeza nti  kyamukola bubi nnyo Mukyaala we, Maama wange, okuva mu ddiini ye!  Era bweyayiiya okugendako e Lourdes n'abe Lubaga, yanona Maama gyeyali, n'agenda naye!  Kozzi alugulidde gyelutagulirwa!
 
Tereza Nakakande yali yafumbirwaako nebumulema bulemi.  Bba, ow'empeta ye Wamala.  Bazaala abaana babiri abawala nga bansinga nze obukulu.  Wabula Tereza Nakakande erinnya lye oly'obufumbo yali talikozesa.  Ebisera ebisinga ng'ayagala kweyita mmanya ga   Maama wange:  Nga 'Kakooza' oba 'Naalongo'.  Kitange ng'asirika busirisi. 
 
… page 3/…
... page 3…
 
OMULOGO…
 
Naye olugendo lwe Lourdes bwelwaatuuka, Taata Wange neyetegeka yye na Mukyaala we betabe mu kulamaga olw'e Lourdes.  Taata yayiiya batwaale ne Senga waffe omugenzi Nattaliya Namaganda ne mukulu waffe omugenzi Judy Nabaweesi.  Tereza Nakakande yanyiikaalira ddala.  Naabuuza Kitange lwaaki tatutteemu yye.  Yye Taata kwekumuddamu nti:  "Oba e Lourdes tugenda wa Katonda, ewa Katonda nze ng'endayo na Mukyaala Wange omutukuvu"!  Nga naye asimba amakanda era ng'alemerako.   Kko Nakakande nti tondabanga!  Ng'agenda mu passport office, ng'afuna zi foomu, ng'ajjuzaamu ammanya ga Maama Wange nti ye Mukyaala Naalongo Kakooza!  Kko aba passport office nti "omwaami naye foomu azisayininge".  Teyali mubi ng'azimukwanga nti "Zisayininge, nze njakwesasulira".  Taata ng'agaana.  Nga yegaanira ddala nti:  "Nze sikuwanga kintu kya Mukyaala Wange!  Sisobola kukuwa mmanya ge!  Ggw'omanyi ebyakuleeta.  Toli Mukyaala Kakooza.  Oba oli Naalongo ng'oliko gyewazaala abalongo, mpozzi!  Naye wano ssi ggwe Naalongo". 
 
Nakakande teyagenda Lourdes na Mwaami wa Mmange.
 
Tereza Nakakande yakaabirako omwaka mulamba nga yye bwaali ekifananyi obufananyi mu maka ga kittafe.  Era buli gweyalabanga ng'amunyumiza ennaku ye!
 
Nga mbalabira omusajja omulogo gweyalogera amaka ge bweyaloga omulogo ng'ajulizza bujuliza Katonda we.  Omuzira oyo yali omugenzi Taata Wange omwagalwa Joseph Lunguju Kakooza.  Era awummule emirembe gye!  Amiina.
 
 
 
Mega Magguleeti,
Katonda Omega Omwaagale wa Katonda,
MUKYAALA WA KATONDA WE.
 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers