UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Olunaku Olw'okussamu Ba Taata Ekitiibwa:

OLUNAKU OLWOKUSSAMU BA TAATA EKITIIBWA
 
Bannange mwenna:  
  
Buli mwaka, Abamerica balina olunaku olw'okuteeka ekitiibwa mu ba  taata  
 baffe.  June  15, 2014  lwelunaku olwo mu mwaka guno. Buli muntu (okujjako abamu mu maaso eyo bajja kuzaalirwa mu test-tube) naye mmanyi buli muntu alina taata
eyamuzaala abeere nga mulamu oba nga yafa dda!  
Ensi eno America erina bingi byetusaanye tugitenderezeemu wamma ate  
n'okuginyomoolamu naye kye ndaba nga kya ttendo kwekulaba nga waliwo  
 ennaku eziteekebwawo okujjukiza ffenna ekigambo kino okyokujjukira ba  taata
baffe.  
  
Bannange, bameka ffenna abajjukira ba taata  bye baatukolera era  
 n'okwefiiriza byonna kwebayitamu okutuzaala n'okutukuza?  Ffe nga ABAGANDA  
nsaba tufube nnyo okukubiriza bannaffe okwagala n'okuteeka ekitiibwa mu  
 ba taata baffe (Temugamba nti ba maama mberabidde, olwabwe twalumala  nag May 11, 2014  era obubaka bwebumu  nabuweereza ) anti ekkula n'ettendo lisibuka mu  
kuzaalibwa. Kuno nteekako ba taata ba bakyala baffe abatuzaalira amakula era abazaala  abaana baffe mwenna . Mwebale nnyo omulimu omunene  gwemukola. Wano abammanyi obulungi mu kyalo kyaffe  Washinngton D.C. n'emirinaano bankazaako erinnya "ABAZAALA MWEBALE" anti tewali  luyimba lunnyumira kuyimba nakukubirako ngoma nga oluyimba olutenda abanzaala n'abazaala oyo eyansiima mu bonna .
  
Awo nno, nsaba abakulembeze baffe e Uganda, e Buganda mu Government ne  
 mu nzikiriza zaffe bateese tufune olunaku mu Uganda oluyitibwa olwa bazadde  
"FAMILY DAY" , "OLWABAZADDE", nga kw'olwo buli muntu ajjukira  
abamuzaala mungeri eyenjawulo.  
  
Mmaliriza nga neyonger okwebaza nnyo ba  taata baffe mwenna abatuzaala n'abo  
 abatuzaalira abaana baffe wamu ne bakyala baffe nti " Mwebale nnyo mwebale nnyo  
mwebale" oluyimba lwange bwerugamba. Okusula nga mutunula, okwefiiriza  
eby'okwejalabya nemutukuza, netusoma netubeera abeesimbu mu nsi muno ect..  
OMUKAMA DDUNDA ABONGERE EMIKISA ESSANYU NE DDEMBE. ABO ABAATUFAAKO  
BAWUMMULE MIREMBE.  
  
TAATA YOANNA S. MUBIRU  WEBALE NNYO OKUNZAALA N'OKUNKUZA MU  NKUZA GYEWANKUZAAMU.  EYO OMUKAMA GYEYAKUTWALA WUMMULA MIREMBE NGA BWOYONGERA OKUNSABIRA.  TAATA  MATHIAS  R.  KIBIRA WEBALE KUTUZAALA
EYO OMUKAMA GYEYAKUTWALA WUMMULA MIREMBE NGA BWOYONGERA OKUTUSABIRA.
  
NOTE: If you are not able to understand this message please ask someone  
who knows Luganda to help. I express myself better in Luganda.  
  
AKUUME.  
  
JohnBNMubiru  
June-11-2014

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers