UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} ABAAMI BA KABAKA AB'ESSAZA MUTEESA MAWOGOLA

ABAAMI BA KABAKA AB'ESSAZA MUTEESA MAWOGOLA 1901-2014

BYA AHMED KATEREGGA MUSAAZI

Omwami wa Kabaka Owessaza Muteesa Mawogola eyasooka ye Andreya Luwandagga. Ono ye yali amyuka Omulangira Semei Lwkairenzi Kakungulu, mu kukola ekikwetekyo ky'okuwamba Ssekabaka Daniel Basabbula Mwanga ll, eyali avudde mu lubiri e Mmengo mu 1897, eggye ne ne liwangulirwa e Kabuwoko mu Buddu, n'asala ng'ayita mu Mawogola n'agwa e Buwekula wuuyo Bunyoro gye yakwataganira ne Ssekabaka John Kabaleega e Bunyoro ne bawambirwa  Lango gye baggyibwa okuwang'angusibwa e Seychelles.

ABATAKA BA BWERA

Ebyafaayo bitutegeeza nti eggye ly'Abaganda abasomi eryajja ligoba obuwufu bwa Mwanga, ly'agenda okutuuka e Nanzigombe ku lubalama lw'omugga Katonga, lyasanga yasaze dda ng'agudde e Buweekula. Baasalawo obwakabaka buno obwa Bwera, obwali bwekutudde ku Bunyoro, nga bufugibwa Abengabi Emmmooli, ng'embuga yaabwo eri Nnambiriizi na kati awakyali ekifo ekiyitibwa Bwera, okum[pi ne Eker4eziya Katolika awamu n'essomero lya Nambiriizi Primary School R/C, bugabanyizibwemu abalangira babiri batabani ba Muntu, ng'omufuzi waayo bwe yayitibwanga.Omulangira omu  n'aweebwa mayiro z'ettaka e Nkonge awali sitenseni y'eggaali y'omukka n'e Kabamba awali ettendekero ly'amagye ono nga ye jajja wa Brig.James Mugira, akulira amakolero g'amagye aga  Luwero Industries. Omulala, Omulangira Muntu Njovu n'agabana Mayiro e Bulera n'e Kyebando mu Mawogola era ng'ono ye mukulu w'ekika ow'akasolya owa Engabi Emmooli. Muntu Njovu y'o mu ku baami absaa emikono ku ndagaano ya Buganda eya 1900. Muntu akayasembyeeyo  abadde Frank Museveni eyafa mu 2011 n'aziikibwa e Kyebando.

OBWAMUTEESA

Abawagizi ba Mwanga nga bakulemberwa Gabriel Kintu baagenda mu maaso n'olutalo  olwekiyeekera nga basinziira mu Mawogola ne mu Kabula, kwe Abangereza n'Abaganda  kwe kusalawo okusindikayo  omulwanyi Andreya Luwandagga afuuke omwami ow'essaza Muteesa eyasookera ddala mu 1901. Abamu ku balwanyi be be yafuga nabo Mawogola, mwemwali Omulangira Nyansi Bulenzi Kasajja, eyafuuka omwami ow'omuluka gw'e Miyenje kati Nsoga,  ogwavaamu amagombolola g'e Lwentale kati mijwala,  Lugusuulu ne Ssembabule Town Council. Ono yagabana Mayiro e Nnambiriizi.

Nyanzi Kasajja yali mutabani wa Mutaka Makaato l eyali omukulu w'olunyiriri oba ennyumba ya Bringwira e Kisawo okumpoi n;e Lukaya mu Buddu. Makaato, eyali yeekwese mu kika kya Omutima oluvannyuma lw'ebiyigganyizo by';abalangira mu ntalo za Ssemakookiro ne Junju, yasiiga mutabani we Kasajja mu lubiri lwa Sseekabaka Mwanga. Baali bawerekera Kabaka mu Nyanja mu Ndeeba okuwuga, ne bamusookamu, n'abasalako amatu olw'obutawulira era nyansi Kasajja yayitibwanga "Omusale w'amatu." Oluvannyuma yafuuka omulwanyi kayingo mu ntalo z'e Bwera kati Mawogola. Yali mwami wa muluka gw'e Miyenje kati Nsoga (ogwatwalanga kumpi amagombolola ga Lugusuulu, mijwala ne Ssembabule Town Council kati). Yafa mu 1939 n'asikirwa mutabaniwe Omulangira Matia Makaato naye eyafa mu 1954 n'asikirwa mugana we Omulangira Zuli Arabi Idi Dungu Mukasa kimera, n'afa mu 1988 n'asikirwa mutabani we Sheikh Abbaas Nkangabwa Kimera n'afa mu 2002 n'asikirwa mutabani we Ahmed Kateregga Musaazi, Omutaka Makaato aliko kaakati.

Embuga y'omwami ow'essaza Muteesa Mawogola eyasooka yali Makoole mu gombolola y'e Lwemiyaga. Okusinziira ku Mw. Benedict Kalibbala, omu ku b'essaza Muteesa  Mawogola abaawummula, eyazaalibwa mu 1932,  ekitundu kya Lwentale kati Mijwala, Mateete ne Lwebitakuli, ekyali mu gombolola ya Mumyuka Kalungu e Buddu, ky'asalwa ku Buddu ne kigattibwa ku Bwera okukola essaza Mawogola, olwo embuga n'eryoka ezzibwa e Ssembabule w'eri kati.

Okusinziira ku Mw.Kalibbala, abamu ku baami b'essaza Muteesa Mawogola bajjukira, mwemuli

Victoria Mukasa eyali owamamba, Birimumaaso eyali owa Emmamba, Matyansi Kigoonya eyasimba ekibira kya Kalittunsi e Kikoma ku luguudo oluva e e Kagologolo okugenda e Ssembabule, Simooni Kurutuuta eyali owa Empologoma, Mikayiri Matovu n'Omulangira Sebastian  Kabumbuli Kitayimbwa eyasembayo ku Ssekabaka Muteesa ll.

Nga Obote asanguddewo obwakabaka mu nsasagge ya 1966/7 yalonda Yiga okuva e Butenga okuba omwali ow'essaza, n'aggyawo ekitiibwa kya Muteesa n'essaza n'alipaatiikako erinnya era Ssembabule. Kino kyali kya kiyita mu luggya, Amin bwe yawamba mu 1971 n'azzaawo erinnya erya Mawogola naye teyazzaayo lya Muteesa. Yasindika Corp.Frabcis Kasozi okuba omwami ow'essaza, mu 1974 yasalako n'ery'e Lwemiyaga n'alisindikamu Diriisa Sserwadda, mu 1979 nga Amin avuddeko, omugenzi Polof.Yusuf kironde Lule essaza yaliwa Kajubi okuva e Katimba mu gombolola y'e Mateete, eyali aketeera abajaasi ba Tanzania, naye Lule olwavaako naye n'aggyibwako n;asikirwa Sebastian Kitayimbwa naye eyali azze n'Abakomboozi. Ono yaliko okutuusa mu 1981, omugenzi Paulo muwanga eyali omuimyuka wa Pulezidenti bwe yaleeta muganda we Kafuuma n'alamula okutuusa Yoweri Museveni bwe yajja mu buyinza. Yasooka kussaako Mw Kasule n'oluvannyuma Muhammad Lubega okutuusa mu 1993 enkola ya Disentulayizeesoni lwe yajja n'edibya abaami ab'amasaza, olwo Kabaka Mutebi n'asiima n'azzaako Kitayimbwa, bwe yawummula ne kuddako Benedict Kalabbila, bw'amudde ne kuddako Peter Kuwatakanya , kati eyakawummula kuddeko Ssaalongo Nsamba Kabajjo agenda okutuuzibwa.

                BA RDC

Amin Mawogola yagifuula Sub District ng'eyasooka yali Olobo eyafiira mu biyigganyizo by'a Abacholi n'Abalango mu 1977, ne kuddako Umara, ne kuddako Talisuna, ne kuddako Senzonga ng'eyasembayo yali Bello Mukasa eyali asiramuse n'agenda n'e Makka ate Amin bwe yavaako n'addayo mu Bukatoliki.

Sub District bwe yaddawo mu 1988 eyasooka ku bubeezi bwa RDC yali Muky.Margret Baryehuki era nga ye RDC eyasooka nga Ssembabuwel esajjakudde mu 1997, ne kuddako Dr.Hassan Galiwango, Serwano Kagogorwa ne kuddako Kamara Bayeye nga kati kuliko Ssekabiito Kitayimbwa.

               

 

BASSENTEBE BA LC V

                Bassentebe ba LC V; Eyasooka yali Emmanuel Sekimpi (1997-1998), Asiimwe Amon Byamukama (1998-2000), Henry Bitakaramire (2000) Herman Sentongo (2000-2011),ne Dr.Elly Muhumuza okuvA 2011 aliko kati.

                ABABAKA BA PAALAMENTI

Dr.Babumba (UPC/KY) (1962-1971) YAFUUKA MUMYUKA WA Minista w'ebyobulamu ku Obote l, Paul Ssali (DP) 1980-1985, George William Kasujja NRC (1989-1996), Dr. Hijiro Semajege Lwemiyaga (1989-1996), Sam Kuteesa (1994-95 (C.A.), Paalamenti okuva mu 1996 okutuusa kaakti, Sam Wakoojo Asiimwe (Lwemiyaga (1996-2001), Theodore Ssekikubo, okuva mu 2001 okutuusa kaakati. Hanifa Kawoola omubaka omukazi owa disitilikiti okuva mu 2001 okutuusa kaakati.

BAMINISITA

Sam Kuteesa (1985-1986) Minister w'ebyamateeka era Ssaabawabuzi wa Gavumenti, 1996-2006, Minister omubeeiz owebyensimbi, 2006 okutuusa kati Minista w'ensonga ez'ebweru era Pulezidenti w'olukiiko tabamiruka olw'ekibiina ky'amwanga amagatte

Gen. David Sejusa, Minista omubeezi oweebyokwerinda, 1989 1992.

Ends…

 

 

 

--
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers