UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Eyasonsese ekibumba mu mbugo asibise muliraanwa asindikiddwa Luzira

Eyasonsese ekibumba mu mbugo asibise muliraanwa asindikiddwa Luzira
Jan 08, 2015
Ekibumba
Bya Madina h Nalwan ga ne Andrew Ssekitooleko
OMUKAZI asindikiddwa ku limanda e Luzira nga kigambibwa nti yalwanye ne muliraanwa n'amuloopa ku poliisi ng'alim bye nti yamusambye mu mbugo n'avaamu omusaayi.
Omulamizi wa kkooti ento e Kira, Kenneth Komaketch yasindise Grace Akello ku limanda e Luzira bwe yagula ekibumba n'akyesonseka mu bukyala asibise munne nti amusambye mu lubuto n'akosebwa.
Grace Akello 32 nga mutuuze w'e Kirinnya, Namataba ekisangibwa mu ggombolola y'e Kira kigambiba nti yafuna obutakkaanya ne Godfrey Onyango ng'entabwe eva ku masannyalaze.
Omuserikale w'e Kirinnya akola ku nsonga zino, Mudang, yategeezezza nti bwe baalwana Akello n'addukira ku poliisi e Kirinnya okuwaaba kyokka nga yasooka ku bbuca n'agula ekibumba n'akisonseka mu mbugo era olwatuuka ku poliisi ng'abunye omusaayi, ne bamusindika ewa dokita bamukebere awakosefu afune n'obujjanjabi.
Dokita yasangayo ekibumba ky'ente n'akiggyayo n'akiteeka mu kaveera n'amukolera lipooti gye yalina okutwala ku poliisi. Wabula dokita yakubira poliisi n'agibuulira ekituufu Akello n'akwatibwa.
Leero (Lwakuna)  bamusomedde omusango omulamuzi n'alagira gutandike okuwulirwa nga January 21.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers