{UAH} Col. Besigye amezze Gen. Muntu
Bya KIZITO MUSOKE, MADINAH
NALWANGA ne LAWRENCE KITATTA
BESIGYE yasoose kulaga bweraliikirivu olwa Muntu okusuza abalonzi mu wooteeri era n'abasisinkana mu ngeri ey'enjawulo mu kiro ekyakulembedde akalulu ka FDC akaabaddemu amakuuli. Yaggyeeyo amaanyi gonna mu kutebuka obutego bwa Muntu era ku nkomerero ne balangira nti: BESIGYE AWANGUDDE. Yafunye obululu 718 ate Muntu n'abuukayo n'obululu 289 bwokka. Abalonzi baabadde 1,043 kyokka obululu 36 bwafudde.
Besigye yasoose kulaalika nti ebinaava mu kulonda bwe binaaba tebikwataganye n'ebyo by'asuubira, tajja kubikkiriza kubanga Muntu yabadde amenye amateeka g'ebyokulonda agakugira okugugulirira abalonzi.
Kyokka yazzeemu amaanyi nga batandise okubala obululu era baabadde baakasomako obululu nga 50 bwokka, abawagizi be ne batandika okujaganya, anti nga basoma: Besigye, Besigye, Besigye, olwo ne balyoka basomayo aka Muntu kamu!
ENGERI BESIGYE GYE YATEBUSE MUNTU
Besigye yakunze abawagizi be ne beetoloola ekisaawe ky'e Namboole nga bayimba erinnya limu – Besigye, Besigye, Besigye! Emiryango gy'ekisaawe gyonna gyatimbiddwa ebifaananyi bya Col. Dr. Kiiza Besigye era n'abawagizi be abaabadde mu mijoozi okuli ekifaananyi kye ne beesogga ekisaawe nga bwe bamulaga obuwagizi.
Kino kyanyiizizza enkambi ya Maj. Gen. Mugisha Muntu ne basaba Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu FDC Dan Mugarura afulumye abo bonna abaabadde mu kisaawe munda, badde ebweru balyoke basunsulemu abalonzi abatuufu nga bayita linnya ku linnya.
Kino kye kyakkakkanyizza olutalo olwasooseewo ng'ekibinja ky'abawagizi ba Besigye balwana n'abaabadde bakuuma emiryango abaabadde bagezaako okubalemesa okuyingira ekisaawe.
Wakati mu kulwanagana okwasooseewo, poliisi yabadde ebivuddeko oluvannyuma lw'abavubuka okugiwalalira nti, Mutwagaza ki? Ono mumuyita ttabamiruka wa NRM? Ffe tetwagala bukuumi bwammwe.
Okusunsula olwawedde nga n'abalonzi abatuufu abasukka mu 1,000 basunsuddwa era nga bakkalidde mu bifo byabwe, kampeyini ne zitandika. Wadde ebifo by'okujjuza byabadde 17, amaaso gonna gaabadde ku Besigye ne Muntu – ani awangula bendera ya FDC okuvuganya ku Bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.
Besigye yawagiddwa nnyo omubaka Geoffrey Ekanya eyakuliddemu kakuyege we, Patrick Oboi, Nathan Nandala Mafabi, Jack Sabiiti, Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo ne Ibrahim Semujju Nganda.
Wadde Muntu naye obwedda awagirwa omubaka omukazi owa Soroti, Angella Osege era nga ye yakuliddemu kakuyege we n'ayambibwako Abdu Katuntu, Paul Mwiru, Ibrahim Kasozi ne Sewava Serubiri; Besigye yasigazza enkizo y'enduulu ey'amaanyi n'okukuba engalo ezimuwagira okuva mu balonzi ne zitiisa n'abaabadde abawagizi ba Muntu.
KAMPEYINI ZAABADDE ZA KWERUMBA
Mu kusaba akalulu, Besigye eyasoose okwogera yagambye nti, yeewuunya Muntu okuva ku kyasalwawo FDC n'omukago gw'ebibiina ogwa The Democratic Alliance (TDA) eky'obutakkiriza kwetaba mu kalulu ng'ennongoosereza mu byokulonda tezireeteddwa.
Yayongeddeko nti ekiseera Muntu ky'amaze ng'akulembera FDC talina kinene ky'agasseeko mu kuzimba emirandira gy'ekibiina okuva wansi ku byalo; n'anenya n'abamugamba nti, awanguddwa enfunda ssatu teyeetaaga kuddamu kuvuganya ate nga bakimanyi nti abadde abbibwa bubbibwa. Yayimusizza Gen. David Sejusa n'agamba nti: Oyo ye mujulizi wange, yantegeeza nti, okulonda okwasooka nnakuwangulira ku bululu ebitundu 70 ku 100 ne banziba.
Kyokka Muntu olwakutte akazindaalo n'ategeeza abalonzi nti bwe bakola ensobi ne balonda Besigye, basuubire ebizze bibaawo kubanga wadde akomyewo bamukwase bendera y'ekibiina naye talina nteekateeka gy'akoze kuziyiza bamubba bulul.
Yakakasizza abalonzi nti ky'asinga Besigye kwe kukola enteekateeka nga yeesigama ku busobozi obwamusobozesa okuduumira amagye g'eggwanga nga wa myaka 29 gyokka n'assaawo likodi etamenyebwanga.
Obubaka bwa Besigye bwatambulidde ku mulamwa gwa kusiguukulula Museveni kyokka obwa Muntu ne bwetoloolera ku kuzimba maanyi ga kibiina. Kino kyayambye Besigye kubanga abalonzi kye baabadde beetaaga okuwulira ngeri ya kumegga Museveni, ssi kwongera maanyi mu kibiina.
BESIGYE OKUWANGULA KITEGEEZA
KI ERI NRM NE MBABAZI?
Wadde Muntu yabadde asoose kusambajja abakimuteekako nti, alina akakwate ne Pulezidenti Museveni, aba NRM bangi gwe babadde baagala awangule.
Obweraliikirivu bwabwe ku kya Besigye okuwangula tebuli ku maanyi g'alina mu kalulu, wabula ku ky'ayinza okukola omuli okukazira n'awandukamu ku ssaawa esembayo ng'awa ensonga y'ennongoosereza mu mateeka g'ebyokulonda Palamenti z'etaayisizzaamu.
Pascal Odele eyabadde mu ttabamiruka e Namboole yagambye nti, Besigye bw'azira okulonda nga ye muntu ow'amaanyi awagirwa omukago gw'ebibiina ebivuganya gavumenti (TDA), kiyinza okukosa ekifaananyi ky'okulonda, nga Museveni akalulu akasigaddemu na banafu beereere.
Okuyitamu kwa Besigye nakwo kwongedde okunafuya emikisa gya Mbabazi okuweebwa bendera ya TDA kubanga okunoonyereza kwonna okuzze kufuluma kulaga nti, Besigye amuli waggulu mu buganzi. Muntu aba kuyitamu, Mbabazi yandibadde n'enkizo kubanga okunoonyereza okwo kubadde kumuteeka waggulu wa Muntu.
George Lutwama ayabadde e Namboole yagambye nti, okusinziira ku byavudde mu kulonda Mbabazi alina omukisa gumu gwa kuvuganya ku lulwe; kyokka Besigye bw'akwata ekkubo ery'okuwanduka mu kalulu, Mbabazi asobola okufuna enkizo ng'akasigaddemu naye nga kimubeerera kizibu okuwangula kubanga abawagizi ba Besigye baba tebayinza kumulonda nga bamulaba ng'abaliddemu olukwe.
Mu kusooka Ssentebe w'ekibiina, Wasswa Birigwa yasabye abakiise okuyisa ennongoosereza mu Ssemateeka era n'abasaba okuyimirira ne basiriikirira nga bajjukira eyali ssentebe w'ekibiina Sam Kalega Njuba eyafa nga December 13, 2013.
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment