{UAH} Poliisi eyigga abaayokezza amaka ga Ssentebe wa NRM
Bya Samuel Kanyike
POLIISI y'e Luweero eyigga abazigu abaalumbye amaka gassentebe wa NRM mu disitulikiti ya Luweero Ronald Ndawula ne bagateekera omuliro ebintu ebibalirirwamu bukadde bw'ensimbi ne bisirikka.
Bino byabaddewo ku ssaawa 9:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokuna mu maka ga ssentebe ku kyalo Kavule mu kibuga Luweero abazigu abateeberezebwa okujja ne petulooli bwe baamuyisizza mu ddirisa ly'emmanju ne bakoleeza omuliro ne badduka.
Ndawula yategeezezza nti yabadde yeebase n'awulira omukuumi we ng'amuyita nga bwakuba ku ddirisa ng'amutegeeza ng'enju bw'ekutte omuliro era okusimattuka yayitidde mu galagi n'asobola n'okutaasa emmotoka ye.
"Erikka lyabadde lifuluma mu ddiiro n'enkubira poliisi essimu kyokka yagenze okutuuka egezeeko okuzikiriza omuliro ng'ebintu bisaanyeewo", Ndawula eyayungunguse amaziga bwe yategeezezza".
Ebyayidde mulimu ebintu byabadde asuubula okuva e China ebibadde bifumbekedde munju omuli ebitabo, amasaawa, engatto, engoye, enkofiira n'ebirala omwabadde firiigi, entebe.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana, Lameck Kigozi yategeezezza nti okunoonyereza kwalaze nti enju teyayokeddwa masannyalaze kuba tegaabaddeko ng'abaakoze ekintu kino baakyetegekedde ne bamanya n'entambula za ssentebe ne beeyambisa n'obunafu bw'omukuumi we n'agamba nti era bali mu kubalinnya kaggere.
Yagasseeko nti ekibinja ky'abazinyamooto abazze okuzikiriza omuliro kyayise ku bantu omwabadde eyabadde mu kapale k'omunda kokka nga beewaana nga bwe baabadde bakoze ekikolwa kino.
RDC wa Luweero, Alice Muwanguzi yavumiridde abaakoze ekikolwa kino n'asaba Bannaluweero nabo bakivumirire era bakule mu byobufuzi baleme kwenyigira mu bikolwa bya kikafiiri n'asaba bwe wabaawo obutakkaanya bugonjoolwe mu ngeri ya kisajjakikulu.
Kyategeezeddwa nti eggulo waliwo abawagizi b'omu ku baawanguddwa mu kamyufu ku bwa Meeya bwa Luweero abaayogeredde Ndawula ebisongovu ne batiisa n'okumukolako obulabe nga bagamba yawagidde eyabawangudde.
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com
0 comments:
Post a Comment