{UAH} BUGANDA CULTURAL FESTIVAL IN MANCHESTER SATURDAY 14TH NOV 2015
Abe Bungereza banaavuganya mu mpaka z'ebyobuwangwa
Bya Musasi waffe
Abantu mwenna muyitibwa okubaawo ku mukolo ogwokutongoza olukiiko lw'omukungu wa Ssaabasajja e Manchester n'omwoleso gw'ebyobuwangwa (Buganda Cultural Festival) ku Lwomukaaga nga 14th November 2015.
Omukolo guno mawuuno, gugenda kubeera ku Parrs Wood High School Main Hall, Wilmslow Road, Manchester, M20 5PG okutandika ku ssaawa musanvu (1pm).
Okuyingira kwa bwereere; era mu bitegekeddwa okukolebwa mulimu; Omusomo ogukwata ku nnyanja ya Kabaka, amazina ag'ekinnansi,ebitontome, empaka z'okusiba busuuti/gomesi, empaka z'abaami okuwaata amatooke, okwolesa emisono gy'engoye, empaka z'abaana okulanya n'okuyimba ekitiibwa kya Buganda,omweso, ekigwo ggumbya, okusika omugwa;okugaba ebirabo ne satifikeeti,n'ettoffaali n'era n'era. Eby'okulya n'okunywa ttomooni ate nga byonna bya bwereere!
Omugenyi omukulu ye mubaka wa Ssaabasajja mu Bungereza ne Republic of Ireland, Owek. Ronald Lutaaya ng'ono y'agenda okukola omukolo ogw'okutongoza omukungu wa Ssaabasajja e Manchester n'ebitundu ebiriranyeewo, Enock Mayanja Kiyaga, wamu n'olukiiko lwe.
Guno gwe mulundi ogusoose Manchester okufuna ofiisi y'omukungu wa Kabaka nga kino kyaggyawo oluvannyuma lw'enkyukakyuka Ssaabasajja ze yakola mu baami be abamukiikirira mu mawanga agali ebweru wa Uganda omuli ne Bungereza n'asiima ne Manchester efune omukungu ng'era ababaka abapya baalangirirwa mu mwezi gwa February omwaka guno 2015.
Mu ngeri y'emu, Ssaabasajja yawa abaami be yalonda obuyinza okwerondera obukiiko mu bitundu byabwe bwe banaddukanya nabwo emirimu.
Mu bagenyi abalala mulimu Omubaka wa gavumenti eyawakati mu Bungereza (Uganda High Commissioner mu UK) Polof. Joy Kikafunda, abakungu ba Ssaabasajja abalala mu Bungereza omuli Robert Mukiibi (North London), Kasimu Muguluma (South London) wamu ne Rebecca Lubega-Bukulu (Scotland), abalangira n'abambejja, abakulembeze b'enzikiriza ez'enjawulo wamu n'ab'ebitiibwa abalala bangi.
Omukolo guno gusuubirwa okugatta Bannayuganda bangi ddala okuva mu bitundu eby'enjawulo omuli Greater Manchester, Liverpool, Sheffield, Birmingham, Coventry, Leeds, Derby, London n'ebitundu ebirala byonna mu Bungereza, Republic of Ireland ne Bulaaya ng'era gutambulira ku mulamwa ogw'okwegatta n'obumu okuyita mu by'obuwangwa.
E Manchester awagenda okubeera emikolo, abatuuze mu kiseera kino bali mu keetalo nga beetegekera empaka z'omwoleso gw'eby'obuwangwa ogwesungiddwa ennyo.
Akulira enteekateeka zino, omukungu Enock Mayanja Kiyaga akubiriza abantu ba Ssaabasajja ne Bannayuganda bonna okwetaba mu mpaka zino ez'okwolesa obuwangwa n'obumu mu Bannayuganda e Manchester ne Bungereza yonna.
Kiyaga agamba nti ku mukolo guno, buli muntu yenna ayanirizibwa okujja okwolesa eby'obuwangwa bwe awatali kusosola mu mawanga, eddiini oba enzikiriza mu by'obufuzi.
Kwo okutendekebwa mu mazina ag'ekinnansi n'ennyimba kwatandika omwezi oguwedde era nga kubeerayo buli Lwakutaano ku kitebe ky'ekibiina ekigatta Bannayuganda mu Manchester (UCOMM) ku Surcon House, Copson Street M20 3HE Withington Manchester era ng'enteekateeka zino zikulirwa James Bateeze ate nga ye Martin Pande y'atendeka abazinyi b'amazina amasoga.
Bbo abaami abagenda okwetaba mu mpaka z'okuwaata amatooke bawandikiibwa Haji Mustafa Ntambi Ssengo, empaka z'ekigwo gumbya zitegekebwa Haji Rajab Bbosa ate ye Kayemba Edward Kayondo n'ategeka omweso.
Omulangira Ronald Wampamba y'avunaanyizibwa ku mpaka z'abaana okulanya n'okuyimba ekitiibwa kya Buganda, Sheikh Mustafa Ahmed Kawooya y'akola ku mpaka ez'okusika omuguwa, Allan Ssemanda y'awandiisa abaami abaneetaba mu kwolesa ekkanzu n'ebyambalo ebirala eby'ekinnansi, ate Betty Mirembe Jjemba ne Sylvia Bateeze be basunsula abakyala abaneetaba mu mpaka z'okusiba ggomesi n'engoye endala zonna ez'ekinnansi.
Wategekeddwawo n'empaka z'abaana okumanya ebikwata ku bika byabwe n'ennono ezikulemberwa Brenda Ssempasa.
Abalala abali ku kakiiko akateesiteesi kuliko; omuwandiisi Isaac Jakira, Ssaabakunzi Joel Kasagga Nyanzi, Ivan Ssonko Lutaaya, Leilah Batamuliza, Adam Lutaaya, Christopher Boma, Cliffe Ndahiro Kyobe, Juliet Boma, Fauzia Namakula Khalid, Fredrick Mubiru,Nnalongo Ritah Mugabo, Maggwa Paul Kale, Damalie Ssentongo, Rehema Nnabukeera Kawooya, Sarah Mukaaya, Dickson Wasajja, ne Ronald Kamugisha.
Mujje mwenna twetabe mu kujaguza eby'obuwangwa bwaffe, obumu n'okwegatta ate nga bwe tuyiga tusobole okuweesa Nnyaffe Buganda ne Uganda ekitiibwa.
Wangaala ayi Ssaabasajja Kabaka.
0 comments:
Post a Comment