{UAH} BUganda 2016 Olunaku 6 Okwegayilila MUKAMA
BUganda 2016 Olunaku 6 Okwegayilila MUKAMA, Januali 26
Yelemiya Esuula 23
Ba Nabbi Abalimba
9 Ebya banabbi.
Omutima gwange munda yange gumenyese;
amagumba gange gonna gakankana.
Ninga omutamiivu,
era ng'omuntu omwenge gweguwangudde,
ku lwa MUKAMA
n'olw'ebigambo bye ebitukuvu.
10 Kubanga ensi (yaffe) ejjudde abenzi;
kubanga olwekikolimo ensi ekungubaga
namalundiro ag'omu ddungu gakaze.
Ba nabbi bagobelela ekkubo lyekibi ebbi
bakozesa n'amaanyi mu butali bwenkanya.
11 "Kubanga nnabbi ela ne kabona tebali ku Katonda;
weewaawo, mu nyumba yange (Yeekalu, ekanisa) mwe nsanze obubi bwabwe," bw'ayogera MUKAMA.
12 " Nolwekyo, amakubo gaabwe kyeganaava gaseelela;
ndibagobela mu kizikiza ne mbasibilayo
balisindikibwa ne bagwa omwo.
Kubabga nja kubaleetako akabi akanene
mu mwaka mwe balibonerezebwa,
bw'ayogera MUKAMA.
13 "Mu banabbi be Samaliya
Ndabye ekintu ekyenyamiza:
Baalagula ku lwa Bayali
ne bakyamya abantu bange Yisilayili (BUganda).
14 Mu banabbi be Yerusalemi
ndabye ekigambo eky'ekivve:
bayenda ela batambulila mu kulimba.
Ne banyweza emikono gy'abo abakola obubi,
ne wataba akyuka okuleka obubi bwe.
Bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu;
n'abantu omwo nga Ggomola."
15 Nolwekyo, MUKAMA Omukulu w'eggye ayogela bw'ati ku bannabbi nti:
"Laba, ndibaliisa obusinso, (emmele ekaawa ennyo)
ela ndibanyweesa amazzi ag'omususa (gabutwa),
kubanga mu banabbi be Yerusalemi obwonoonefu, ebikolwa ebitali bya bwakatonda, mwe bivudde okubuna ensi (eggwanga) yonna."
(Okukyuusa Jessica Nakawombe)
Jessica Nakawombe
"Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)
0 comments:
Post a Comment