UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA RONALD MUWENDA MUTEBI II OBWA SSEKUKKULU N’OMWAKA OMUGGYA:

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA RONALD MUWENDA
MUTEBI II OBWA SSEKUKKULU N'OMWAKA OMUGGYA:

Nga twolekedde okujaguza amazaalibwa ga Yesu Kristo n'okumalako Omwaka 2016, nsooka okubalamusaako n'okubeebaza emrimu emingi gye mukola.
Omwaka guno tegubadde mwangu era ebisoomooza nabyo bibadde bingi. Abantu baffe bangi batuvudde ku maaso nga bafiira mu bubenje obw'emotoka n'ebidduka ebirala, abalala batemuddwa olw'ensonga ezitannategeerekeka, wewaawo, nga n'abandi bafudde obulwadde obwa bulijjo.
Tuli banakuwavu olwa bannaffe abaafiira mu bwegugungo e Kasese era tusuubidde nti Gavumemti eyawakati eneekola kyonna ekisoboka okunonyereza n'okukangavvula abo bonna abavaako ekitta bantu kino n'okusala amagezi okulaba nti kikomezebwa mu bwangu.
Ebirala ebinakuwaza, bwe bwegugungo obubaddewo entakera mu matendekero agawaggulu. Abayizi, abazadde n'abasomesa bakosebwa kyenkanyi. Tusuubidde nti wanaabaawo enteeseganya ezanamaddala okugonjoola ebizibu bino.
Tuli mu kyeeya ekireeseewo enjala mu bitundu by'eggwanga lyaffe ebiweerako. Kalunsambulira avudde ku butafa ku buttonde bwansi! Ebibira bitemeddwa, entobazi ne zitataaganyizibwa so nga tukimanyi bulungi nti okutonnya kw'enkuba kwesigamye ku bintu ebyo ebibiri. Twagala buli mukulembeze gyali akubirize abantu okusimba emiti egyabuli kika n'okukomya okulumba entobazi wonna gyeziri.
Mu mwaka omupya, twongere okukalaatira abazadde okutwala abaana baabwe mu masomero, abantu bonna okubeera abayonjo mu maka gaabwe ne mu bifo gye bakolera ate n'okusinga ennyo okwewala endwadde zinnamutta kubanga amakubo mweziyita tugamanyi.
Tubagaliza Ssekukkulu ey'essanyu n'Omwaka omuggya gubabeerere gwa mirembe.
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA

--
Allaah gives the best to those who leave the choice to Him."And if Allah touches you with harm, none can remove it but He, and if He touches you with good, then He is Able to do all things." (6:17)

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers