UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] KCCA eyimirizza bbaasi za UTODA okusaabaza abantu

Bagala bus za RUKAKIRE ZOKKA!! eZ katumba baziganyi .



KCCA eyimirizza bbaasi za UTODA okusaabaza abantu
Kampala | Jun 19, 2013

 

 

 

Bya Hannington Nkalubo ne Charlene Mugalula 

KCCA eyimirizza bbaasi za UTODA eziyitibwa 'Awakula ennume' okutandika okukolera mu Kampalaolw'obutaba na ndagaano ezikkiriza kukozesa nguudo za mu kibuga. 

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti omuntu oba kkampuni eyagala okukolera mu kibuga eteekwa okugobera amateeka. 

"KCCA eteekwa okumanya bbaasi zigenda kukozesa nguudo ki okwawuka ku zikozesebwa Pioneer, zigenda kusasula zitya era zigenda kusimba wa? Byonna tebinnaba kumanyibwa ate nga biteekwa kubeera mu ndagaano ebaweebwa nga tebannaba kutandika kukola," Kaujju bwe yagambye. 

Wabula kino kinyiizizza abamu ku basaabaze ne boogerera KCCA ebisongovu nti esosola ate terumirirwa bantu ba bulijjo abanyigirizibwa aba takisi. 

Wabula Kaujju yannyonnyodde nti singa KCCA ekkiriza bbaasi zino ne zikola, zigenda kusasula zitya omusolo gwa KCCA nga tegumaze kugerekebwa KCCA kwe kusaba abasaabaze bagumiikirize KCCA ebafaako. 

Yagambye nti n'ekitongole ekigerekera bbaasi enkozesa y'enguudo ekiyitibwa Transport Licensing Board [ TLB] tebannaba kubakkiriza okuggyako nga batuukirizza ebyetaagisa. "Kati bbaasi zokka ezikkirizibwa okukolera mu Kampala era ezirina endagaano za kkampuni ya Pioneer tewali ndala," Kaujju bwe yagambye. 

ABA UTODA BANNYONNYOLA. 
Ssentebe wa UTODA, William Katumba yagambye nti KCCA ne TLB beewuunyisa. "Twakabawandiikira ebbaluwa ezisoba mu ttaano nga tubategeeza nti bbaasi zaffe zituuse batukkirize naye nga batubuuza nti bbaasi zemutugamba ziriwa?" Katumba bwe yagambye.

Katumba yagasseeko nti baasooka kubawandiikira KCCA ebbaluwa mu March ne baddamu mu April ne May nga babategeeza nga bwe baamaliriza dda entegeka zonna era nga baagala bakkirize bbaasi zaabwe okutandika okukola naye ne bagaana.

Yeemulugunyizza nti bbaasi nnyingi zikolera mu Kampala kyokka tebamanyi oba zikolera ku ndagaano.

Yayongeddeko nti tebamanyi nsonga zino lwe zinnaggwa naye nga bbaasi weeziri era basuubira okutandika okukola ku Lwakusatu.


Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers